Amawulire

Ntandise olutalo lw’okulabisa.

 

Ono ategeezezza nga bw’atandise olutalo lw’okulabisa Lukwago gw’agamba nti y’alemesezza Kampala okukulaakulana ng’azannya ebyobufuzi bye yagambye nti bya kisiraani n’okwerwanyarwanya nti bisse n’ekibiina kya FDC .

Lukwago kye yeegattako nga ky’amaanyi.

Omuloodi Lukwago tafunyise kubaako ky’ayogera ku nsonga eno wabula yalangirira dda minisita Kyofa nga omuyaayeyaaye w’omu Kampala nga bamafiya gwe bakozesa okunyaga bannakibuga.

Balumiriza nti minisita Kyofa yalina omukono gw’amaanyi  mu bupapula obwasaasaanyizibwa Gen. Salim Saleh eri Lukwago ng’amusaba okumwetondera nti bw’atakikola agenda kumuggyako obuwagizi bwe yali amuwa mu ntalo ze ez’ebyobufuzi wadde nga tebali mu kibiina kimu ekya NRM.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top