Amawulire

Obujulizi mu gwa Nandutu bwa kuwulirwa nga May 25.

Omulamuzi Jane Kajuga owa kkooti enkulu ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo awadde olwa May 25,2023 okutandika okuwulira obujulizi mu misango egivunaanibwa minisita omubeezi ow’ensonga z’e Karamoja, Agnes Nandutu.

Nandutu akomyewo mu kkooti olwaleero era omulamuzi amusomedde emisango mu kkooti eno gyonna n’agyegaana nti si mituufu.

Omulamuzi Kajuga alagidde oludda oluwaabi okuwaayo obujulizi bwonna bwe basuubira okwesigamako eri abawawaabirwa obutasukka Lwakutaano lwa wiiki eno ,basobole okutegeka okwewozaako kwabwe bulungi.

Nandutu yakwatibwa ku nsonga za mabaati g’e Karamoja era yakamala mu kkomera ennaku 15. Era ng’ayita mu looya w’e Charles Nandaah Wamukota ataddemu  kusaba kwe okw’okweyimirirwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });