Esonda okuva mu palamenti zitegezezza nti ababaka ba NRM 401 bawereddwa ebbaasa yabukadde 5 okubebaza okulonda Anita Among omubaka omukyala owa Bukedea ku bwa sipiika wa Uganda n’omumyuka we Thomas Tayebwa era omubawa wa Ruhinda North , ensimbi zino buli mubaka yazifunidde mu kitundu kyavaamu nga ababaka abava mu Buganda zawereddwa omubaka omukyala owa Mubende Hope Grania Nakazibwe eyazisasanyiza mu bakaba ba NRM .
Kigambibwa nti waliwo ababaka nadala abava mu Busoga abatafunye ku nsimbi zino nga babalanga kubeera bawagizi ba eyali sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga ekintu ekyalesewo olutalo mu babaka bano olw’okuyombna kwebasitude nga bagamba nti nabo bawagizi ba NRM lwaki babasosola .
Amyuka akulira akabonda ka babaka ba NRM abava mu Buganda era omubaka wa palamenti owa Kibuku Tom Kinobere agasmbye Ssente zino zawereddwa ababaka b zabadde za kugulayo ku mafuta okubasobozesa okukola emirimu gyabwe munsonga esinga okubeera obulungi era nti tekitegeeza nti bazibawedde kubebabaze okulonda sipiika ne n’omumyuka.
Ababaka abali ku ludda lwa opozisoni nga bakulembeddwa Omubaka wa Kalungu West Gonzaga Sewangu Agambye nti wabaddewo okugabira ababaka ba NRM ssente era buli mubaka wa NRM yaweredwa ensimbi obukade 5 era kyokka nti kikolwa kyabuswavu nnyo kubanga ensimbi zino zandibadde zikozesebwa okukola ebintu ebirala omuli okuzimba amalwaliro mu bitundu byebakilira okusinga okuziwa abantu sekinoomu.
Ababaka abalala abekibiina okuli Cissy Namujju omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Lwengo bategezeza nti ensimbi baazifumnye era mu kuzibawa tewali wesatadde mukono era bagenda kuzikozesa kubanga tebawereddwa mbalilira yazo
Kamisona wa palamenti Solomon Silwany agambye nti tanafuna ku mawulire nti waliwo ababaka ba NRM abafunye ensimbi obukadde 5 obubebaza okulonda sipiika n’omumyuka we era abalumiriza ababaka nti bafunye ssente bebamanyi byebogera.