Amawulire

Odinga awakanyiza obuwanguzi bwa Ruto.

Raila Odinga yagaanye eby’okulagirira William Ruto ng’omuwanguzi w’ akalulu ka 2022 nakakasa nga bw’ agenda mu kkooti.

Bweyabadde ayogerako eri bannamawulire ku Lwokubiri, Odinga yategeezezza nti  agenda mu kkooti okuwakanya ebyalangiriddwa kuba byabadde bikyamu.

Odinga yalumiriza  ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda aka  Independent Electoral and Boundaries Commission (IEBC) Chairman Wafula Chebukati okuyisa olugaayu mu Ssemateeka nalangirira Ruto mu bukyamu.

“Kyetwalabye eggulo kwekumenya amateeka ga Kenya nga Wafula Chebukati nabamu ku bakamisona abatono. Emiwendo egyalangiriddwa Chebukati  zabadde nfu era okusinziira ku ffe tetulina Pulezidenti mulonde,” Odinga bweyategeezezza.

Odinga agamba nti Chebukati yalaze obwanakyemalira bweyalangiridde obululu nga talina bakamisona bonna abatuula ku IEBC.

Okusinziira ku Odinga Chebukati yalemesezza bakamisona bonna okumanya nokulaba ebyo ebyabadde bigattibwa ebyenkomeredde.

Wabula Odinga  yasabye abawagizi be okusigala nga bakakkamu nga bwebakozesa amateeka okusazaamu ebyalangiriddwa Chebukati.

Odinga yatendereza bakamisona abana aba IEBC okuli;  Juliana Cherera,  Irene Masit, Justus Nyang’anya ne Francis Wanderi abagaanye okwegatta kwabo ababadde e Bomas nga Chebukati alangirira ebintu byeyabadde amanyi obulungi nti bifu.

Kinajjukirwa nti Chebukati yalangiridde William Ruto eyafunye obululu 7,176,141  obwakoze ebintu 50.49 ku buli 100 ate Raila Odinga naafuna 6,942,930 obukola ebitundu 48.85 ku buli 100.

Ye David Mwaure owa Agano party yafunye  31,987 awamu ne George Wajackoyah eyafunye 61,969.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });