Amawulire

Ogwa Wanyoto Ne Nakayenze Gusalwa Nga 30/09/2021

Ogwa Wanyoto Ne Nakayenze Gusalwa Nga 30/09/2021

Omusango gwa munna NRM Lydia Wanyoto gwe yawaabira omubaka omukyaala owa Mbale City Connie Nakayenze Ggaliwango na kakiiko ke byo kulonda, omulamuzi Byabashaiza Andrew ali mu mitambo gyo musango guno yagambye nti enjuyi zonna zimaze okuleeta obujulizi obumala nga kati obuvunanyizibwa bwonna busigadde eri kkooti era yalaze olunaku lwa 30/09/2021 ku ssaawa 3 ezo kumakya lwagenda okuwa ensala ye.

Okubuuza abajulizi ba Nakayenze Ggaliwango kwe kwawunzise ebibuuzo ku bajulizi, era omujulizi omu ye Dr. Hassan Ggaliwango ambassada wa Uganda e Kenya ono teyasobodde kubaawo mu butongole mu kkooti wabula omulamuzi Byabashaiza Andrew yalagidde omujulizi ono nassibwa ku mukutu gwa ZOOM era kweyaweeredde obujulizi bwe, era banna mateeka abo ludda oluwaabi kwe bamubuulizza ebibuuzo, naye ate baamaze ne bawakanya ekyo mujulizi okuddamu ebibuuzo ku zoom nga bagamba nti akaseera kaabadde katono naabula ku mutimbagano, ne basaba omulamuzi obujulizi obwo abugobe kubanga bwabadde tebumatiza.

Wabula omulamuzi Byabashaiza yagambye nti mu mateeka kikkirizibwa omuntu yenna okuwa obujulizi bwe ku ZOOM era yabukkirizza.

Kino kyabaleetedde okufuluma kkooti nga bakkukkuluma, era bategeezezza nti ssi bamativu ku Kino.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });