Amawulire

Okuzza Buganda ku ntikko tulina okumanya obwetaavu webuli –Mayiga

Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Buganda okugenda ku ntikko ebitali bya ng’ombo balina okusooka okutegeera obwetaavu obuliwo okusobola okutuukiriza ekiruubirirwa kino.

Bino Kamalabyonna abyogeredde mu Bulange ku Lwokusatu, bw’abadde atongozza ekitabo kya ‘Manya Essaza Lyo’ ekirimu ebibalo ebikwata ku masaza zonna 18 nga Ssenkulu wa Uganda Bureau of Statistics akiikiriddwa John Mayende.

“Ekitabo kino ‘Manya Essaza Lyo’ Kino kigenda kutuyamba okulinnyisa omutindo gw’obuweereza eri abantu ba Kabaka, nga tulina ebibalo ebituufu.  Enteekateeka zonna okukolebwa mu ngeri ennungamu, tezisaanamu kuteebereza. Mbakubiriza okukyettanira, mufune ebituufu ebifa mu masaza gammwe,” Owek Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga agamba nti olugendo lwonna okugguka, abantu beetaaga okutegeera ekkubo erigenda okuyitibwamu, ekidduka ekisobola okubatuusaayo, amaanyi gebetaaga awamu n’ekiseera so si kulinda mukisa.

Ono agamba nti omukisa nebwegubeera gwakusanga obeera olina okubeera nti weetegese era nobaako byonoonya okumanya so si kuteebereza okusobola okufuna amagabo n’okulaakulana.

Owek. Mayiga annyonnyodde nti Buganda ey’omulembe Omutebi tesobola kugenda mu maaso nga ebikolebwa ebyesigamya ku kuteebereza bwatyo nakakasa nti alipoota ya ‘Manya essaza lyo’ ejidde mu kiseera kituufu.

Ono annyonnyodde nti nga Buganda bwakwongera okwenyigira mu nteekateeka omuli okubala abantu kuba eno bagyetaaga nnyo nga Buganda okusobola okutegekera abantu b’Omutanda.

Ye Omukugu wa UBOS John Mayende agamba nti ekitabo kino kijja kuyamba Obwakabaka okunoonya obuvujirizi awamu n’okulambika Olukiiko lwa Buganda ku wa ewatuufu ewetaaga okutunuulira.

UBOS era ewaddeyo  abakozi babiri bayambeko ku nsonga z’ebibalo awamu Tekinologiya okusobola okutwala enteekateeka y’ebibalo mu maaso.

Ono era asabye Katikkiro Mayiga okubayambako okukunga abantu okwettanira enteekateeka y’okubala abantu mu ggwanga lyonna egenda okubaawo mu August wa 2023.

Ye Ssentebe wa Buganda Statistics Unit,  Dr. E.S.K  Muwanga Zaake asabye  gavumenti  n’ebitongole by’obwanakyewa okwongera okwasizaako Obwakabaka mu kutumbula embeera z’abantu mu Buganda n’okusitula ebyenfuna by’abwe.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu minisita w’ebyensimbi era omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Ssaabawolereza Christopher Bwanika, abakungu, abakulira obukiiko bw’Olukiiko. Abakiise awamu n’Abaami b’Amasaza.

source ;Gambuuze

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top