Amawulire

Oluguudo lwa Ssuuna Road luulajanyiiza abatuuze b’e wankulukuku.

Abasuubuzi n’abatuuze abakolera ku luguudo lwa Ssuuna Road oluva e Kibuye okutuuka e Nyanama bali mu maziga, balaajanidde gavumenti  okulubakolera nga bagamba nti luli mu mbeera mbi nnyo, ekizingamizza  buli ekikolebwa.

Oluguudo luno luva Kibuye webayita ku Joinus ne luyita mu miruka okuli; Najjanankumbi, Ndeeba, Kabowa ne Mutundwe okutuuka e Nyanana  ne lugwa e Zzana, era nga luno lwe luguudo lwa Ntebe Road olukadde.

Bagamba nti, balaajanye ku luguudo luno ebbanga ddene, nga kwe batadde n’okwekalakaasa okuviira ddala ku mirembe gya Ken Lukyamuzi ng’akyali mubaka wa paalamenti,  okutuuka leero naye tebafunanga ku ssanyu.

Mu kiseera kino , oluguudo lulimu ebinya ebiregamamu amazzi mu biseera by’enkuba ne bikola akaseerezi, nga gye buvuddeko abantu beekolamu omulimu ne baleeta ettaka okuyiwa mu binnya kyokka lino lyali bbi, kati buli enkuba bw’etonya luseerera,  emmotoka ne ziremererwa okuyitamu, ezimu zigwa ebigwo, ate ku bw’omusana enfuufu n’ebula okutta abantu.

Christine Nantume, omu ku batuuze b’e Wankuluku agamba nti, eb’ebidduka kati batya okuyita mu kkubo lino nga ne bizinensi zaabwe kati zitambula kasoobo, bangi batya olw’ebinnya ebinene ebiringa entaana  ssaako ebisooto ebireeta akaseerezi.

Aloysius Mukasa, omubaka wa Lubaga South mu paalamenti, ekitundu omuyita oluguudo  agamba nti, yatuukirirako minisita  minisita w’enguudo Gen. Katumba Wamala  ku nsonga eno, n’amutegeeza nti UNRA erina ssente okukola enguudo, nti  naye tebalina ssente za kuliyirira bantu, nti kyokka kino nakyo kirimu obuzibu kuba abantu abamu ate nabo tebalina ssente zaakusengukira walala nga tebaliyiriddwa, n’asaba  abasobola baweeyo ettaka ekkubo likolebwe

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top