Amawulire

Omuvubuka afiiridde mu kunoonya ssente.

 

Omusajja myaka 24 mu disitulikiti y’e Namisindwa, afiiridde mu kuvuganya ku by’okunywa omwenge eccuupa 12 eza Kakasa Kombucha nga tewali kuwumula.

Rober Welikhe kati omugenzi, abadde mutuuze ku kyalo Sikhendu mu ggoombolola y’e Bukiabi e Namisindwa.

Omu ku batuuze Michael Koyi, agamba nti okuvuganya kwatekeddwawo omusuubuzi Augustus Wete.

Omusuubuzi yabadde ataddewo ssente 10,000 eri omuntu yenna ayinza okumalamu eccuupa 12.

Omugenzi Welikhe, abadde amanyikiddwa ng’omu ku basajja abasinga okunywa omwenge ku kyalo era amangu ddala yavuddeyo, okuvuganya okuwangula ssente 10,000.

Omugenzi Welikhe ku myaka 24, yabadde atambudde bulungi wabula ku ccuupa 8, yagudde wansi omulundi gumu, omwenge ne guva mu kamwa, mu nnyindo era mu gezaako okumuddusa mu ddwaaliro lya  Lwakhakha Mercy Clinic,  yafiiridde mu kkubo.

Okusinzira ku ssentebe wa LC 3 Nicolas Soita, bali mu kuoonya omusuubuzi Wete, eyategese empaka ssaako n’abantu bonna abazibaddemu.

Olw’obusungu, abatuuze baakutte omulambo ne bagusuula mu maka g’omusuubuzi Wete okutuusa Poliisi lwe yayingidde mu nsonga.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top