Amawulire

Owek. Kiyimba asabye abayizi okwegatta ku kulwanyisa Mukenenya.

Minisita wa Buganda avunaanyizibwa ku nsonga z’Olukiiko, Kkabineeti era omwogezi w’ Obwakabaka Owek. Noah Kiyimba asabye abayizi okusitukiramu beegatte ku lutalo lw’okulwanyisa akawuka ka Mukenenya.

Okwogera bino Minisita Kiyimba abadde Mityana ku ssomero lya MUMSA High School  mu mpaka ezitegekeddwa okubangula abayizi ku ngeri gyebasobola okwogerera mu bantu (Public Speaking) awatali kwetya.

Owek. Kiyimba agamba nti okunoonyereza okukyasembyeyo okukolebwa kulaze nti okusinga akawuka kano kali nnyo mu bavubuka nga bwekityo basaanye okwenyigiramu butereevu okukalwanyisa.

Ono abayizi era abakuutidde okukozesa obulungi ebiseera byebalina mu ssomero nga bafuna obukugu naddala obukwatagana nebyo byebasobola okweyambisa mu bulamu obwabulijjo era obudde beewale okubumalira mu bitabo byokka.

Owek. Kiyimba  yasabye abayizi obutagayalirira kitone ky’akwogera mubantu kubanga kyankizo mukusalawo ensonga era n’okugulira omuntu emikisa.

Ono yabeebazizza olw’okuvaayo nebawagira emirimu gy’Obwakabaka nga bagula Ssatifikeeti okusinziira mu nnyumba ez’enjawulo mwebegattira okuli;  Jjunju n’ ensimbi  2,012,500,  Kimera  n’essente 1,305,000, Kintu ne ssente 1,059,000 ate Bemba nesemba n’emitwalo 66.

Ye omutandisi w’essomero lino era minisita omubeezi avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu mu Buganda, Owek. Joseph Kawuki yeebazizza Obwakabaka olw’okubeera eky’okulabirako kuba kyekimu ku bintu ebyamuwaliriza okutandika essomero lino.

Owek. Kawuki agamba nti ensangi zino bantu abasinga tebamanyi kwogera mu bantu nga kigwanidde okubangula abayizi mu nteekateeka eno kuba bano bebakulembeze ab’enkya.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top