Amawulire

Owek. Mayiga alabudde abazadde ku bukambwe obuyitiridde.

Katikkiro Charles Peter Mayiga alabudde abazadde bulijjo okwewala obusungu obwetumbiizi nga bagunjula abaana ku nsonga ez’omugaso.

Okwogera bino, Katikkiro Mayiga abadde atikkula oluwalo okuva mu bayizi abavudde e Kyaddondo, Kyaggwe ne Busiro mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.

“Tetwagala kwasisa baana bino eby’omugaso mu bukambwe obuyitiridde wadde amaanyi agayitiridde agateetaagisa.Buli lwoyigiriza omwana eky’omugaso obeera omutegeka era omwana ategekeddwa obulungi asobola okwebeezaawo, ” Katikkiro Mayiga bw’agambye.

Ow’omumbuga Mayiga agambye nti omwana ategekeddwa nga muto asobola bulungi okweyimirizaawo n’okukuuma ebintu bya bakadde be singa baba tebaliiwo wabula ayo atateekebwateekebwa kyangu ensi okumulemera.

Owek. Mayiga era asabye abazadde n’abasomesa okufaayo enyo okubangula abaana n’okubagazisa obuwangwa n’ennono z’abwe nga bakyali bato kibayambe okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri Nnamulondo nga bakuze.

Ye  minisita omubeezi avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu Owek. Joseph Kawuki yeebazizza abasomesa olw’okukwagazisa abaana okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka.

Mungeri yeemu nasaba abasomesa okuyamba ku baana okuzuula obusobozi bwabwe mu bitone ebitali bimu Kibayambe okwongera Ku magezi ge bafuna mu bibiina.

Akiikiridde bato banne Nakatete Anitah, yeebazizza abasomesa babwe abafuddeyo ennyo okubayigiriza ebikwata ku Buganda.

Ye omwami atwala eggombolola ya Ssaabagabo,  Lufuka Ntege Benon Ssempala era nga ye nannyini masomero ga Winterland ategeezezza nti kino babadde balina okukikola kuba abaana bano ye Buganda ey’enkya.

Oluwalo olusoba mu bukadde 17 ze ziwereddwayo okuva mu bayizi bano ziyambeko ku mirimu egikulakulannya Obwakabaka.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top