Amawulire

Ssaabaminister Nabbanja ayingidde mu by’okusalako amazzi mu malwaliro ga gov’t.

Eby’okusalako amazzi mu malwaliro ga government – Ssaabaminister Nabbanja abiyingiddemu.

Ssaabaminister w’eggwanga Robinah Nabbanja ayise ensisinkano ey’amangu, okugonjoola ekizibu ky’amalwaliro ga government okuba nga gaasaliddwako amazzi.

Ayise abakulira ebitongole bya government  okuli  eky’amazzi, n’emiddumu gyakazambi ,ministry y’ebyobulamu, ministry y’ebyensimbi nebirala.

Amalwaliro ga government okuli erye Entebbe ,China Friendship Hospital e Naggulu n’amalala ekitongole ky’amazzi kyagasazeeko amazzi olwobutatasula nsimbi ziribanjibwa.

Eddwaliro lye Entebbe, National water and sewerage cooperation yategezeza nti eribanja ensimbi ezisukka mu bukadde 400, ekyaviiriddeko amazzi okusalwako mu ddwaliro lino ekyasannyalazza emirimu gy’eddwaliro.

Ssabaminisita Robinah Nabbanja agambye nti ekitongole kya government eky’amazzi okusalako amazzi ku malwaliro ga government abadde takiwulirangako ,asoose kukiwurira kati.

Akulira oludda oluvuganya governmnent  Mathias Mpuuga Nsamba ku ntandiika y’omwaka 2023, aliko olukalala lweyatwala mu parliament olw’ebitongole bya government  ebitasasula mazzi.

Mpuuga  agamba nti obubbi n’obwassemugayaavu obwafumbekera mu bitongole by’eggwanga bwebiviirako vvulugu afanaana bwati aleka bannansi okubonaabona.

Ssentebbe wakakiiko ka parliament akalondoola ebyobulamu Dr. Charles Ayume agambye nti amalwaliro ga government buli mwaka gaweebwa ensimbi ezimala okusasula amazzi n’amasanyalaze, neyewuunya ate ekyaviiriddeko amalwaliro ago okusalwako amazzi.

Ekitongole kya Police kye kimu ku bitongole bya government ebirudde nga bibonaabona n’okusalibwako amazzi saako eddwaliro ekkulu e Mulago.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top