Amawulire

Ssaabasajja Kabaka asiimye nawa abaliko obulemu obugaali bubayambeko

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’adduukirira abaliko obulemu n’obugaali okubayamba mu by’entambula.

Obugaali buno Ssaabasajja Kabaka bwamuweebwa aba Rotary aba Rotary Club y’e Nsambya, nga baabutikka Omumyuka wa Katikkiro Owookubiri era Omuwanika, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa.

Omukolo guno gubadde ku mbuga ya Buganda enkulu mu Bulange e Mmengo, nga gukoleddwa Oweek. Dr. Vincent Ssennabulya, omu ku bakiise ba baliko obulemu mu Lukiiko lwa Buganda.

Bw’abadde awaayo obugaali eri bannyinibwo, Oweek. Dr. Ssennabulya, yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okusembeza abaliko obulemu mu kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko.

Owek. Ssennabulya agambye nti Obwakabaka bwatandika ku kaweefube ow’okulwanyisa endowooza mu bantu abamu abalowoowa nti okubaako obulemu kikoligo ekibalobera okubaako eby’enkizo bye basobola okukola.

Abafunye obugaali kubaddeko; Faisal Yahiya, Jonathan Kasanvu, Florence Nakato, Ruth Bisaso ne Shalom Nakulima.

Mu ngeri yeemu, abaliko obulemu mu Bwakabaka bwa Buganda wansi wa minisitule ey’enkulaakulana y’abantu ne woofiisi ya Nnaabagereka, bali mu nteekateeka ez’okukuza olunaku lwabe olulibaawo nga 14 December, 2022, nga Beene bwe yasiima, era nga lujja kukuzibwanga buli mwaka.

Omukolo gw’omwaka guno gwa kutambulira wansi w’Omulamwa ogugamba nti “Entaputa y’obulemu”.

Mu nteekateeka y’olunaku olwo, abaliko obulemu bakungaana ne babaako eby’ensonga bye bategeera ebikwata ku ntambuza y’obulamu bwabwe ate n’okutema empenda z’okuvvuunuka ebibasoomooza mu bulamu bwabwe.

Mu nteekateeka ey’omwaka guno, basuubira okuba n’omwoleso mwe banaalagira bye bakola babifunire akatale, n’okufuna emikwano egiyinza okubayambako.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top