Amawulire

 Taata eyapangisa omusawo okutta mukyala we akiguddeko.

 

Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Luweero, esindise mu kkomera e Butuntumula Taata Friday Musoke myaka 45, okumala emyaka 2 ku misango gy’okwekobaana okwagala okutta mukyala we.

Taata Musoke nga mutuuze we Bombo ku Mayiro 21, yali yekobaanye okutta omukyala we Lilian Namboowa.

Musoke nga musajja musuubuzi ne muganzi we Enid Kanyonyozi, baludde nga bali ku limanda okuva nga 13, Janwali, 2023.

Wadde mu kusooka baali begaanye emisango, webaali basimbiddwa maaso g’omulamuzi Mariam Nalugya Ssemwanga, Musoke yakkiriza emisango era nasaba okuteesa ne Gavumenti mu nkola ya ‘Plea Bargain’, okendeza ku myaka gy’ekkomera.

Olw’okukkiriza emisango, y’emu ku nsonga lwaki, asibiddwa emyaka 2.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga lukulembeddwamu Gloria Akello, wakati wa June, 2022 ne January 2023, Musoke yekobaana ne muganzi we Kanyonyozi, okutta mukyala we Namboowa olw’obutakaanya obwali wakati waabwe.

Nga 21, December, 2022 Musoke yasaba omusawo Dr. Onesmus Bainomugisha okuva ku Global Medical Center mu Katawuni k’e Bombo okumuwa obukadde 5, okusobola okutta mukyala we.

Nga 29, December, 2022, muganzi we Kanyonyozi yawa omusawo emitwalo 50 okuteeka mu nkola eky’okutta omukyala.

Okunoonyereza kulaga nti Musoke yali wakufuna Kalifoomu okuva eri omusawo, okuwa omukyala we anafuwe, okusobola okumuddusa mu ddwaaliro, omusawo okumukuba empiso eyali egenda okumutta.

Dr. Bainomugisha yatemya ku Poliisi, ku nsonga ezo.

Poliisi yawa omusawo ebintu ebyefananyirizaako Kalifoomu nga birambiddwa era Musoke bwe yakima Kalifoomu okuva eri omusawo, aba agenda, Poliisi ya Flying Squad ne bamukwata.

Musoke agamba nti mukyala we, yali amutabukidde, amuyisaamu amaaso, amulemesa amakaage ssaako n’okumukyayisa abaana bonna.

Wabula omulamuzi agamba nti Musoke abadde wakusibwa emyaka 14 kyokka okuvaayo, nakkiriza emisango mu nkola ya ‘Plea Bargain’, y’emu ku nsonga lwaki asibiddwa emyaka 2.

Mu kkooti, n’omukyala Lilian Namboowa yabadde asabye omulamuzi okuwa bba ekibonerezo ekisamusaamu nga balina abaana abetaaga kitaawe ssaako n’okulabirira.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top