Amawulire

Ticha Mpamire katono akutule abaabadde mu kivvulu kya Ssaaka emitima!.

Kazannyirizi Mondo Sseggujja amanyiddwa nga Ticha Mpamire katono akutule emitima abantu abaabadde mu kivvulu kya nnakinku w’okundiika ennyimba n’okuzitendeka Paul Ssaaka bwe yayingiddewo mu sitayiro bonna ne balowooza nti Pulezidenti Museveni y’asazeeko ekivvulu.

Ekivvulu kino ekya Paul Ssaaka at 33 kyabadde mu Victoria Hall ku Serena ku Ssande ekiro.

Ng’ekivvulu kigenda mu maaso eyabadde kalabaalaba w’omukolo yagambye abantu nti waliwo mukwano gwa Ssaaka ow’enjawulo atuuse n’asaba abantu abayimirire era Dj n’asuulamu oluyimba lw’eggwanga ekyabadde kiraga nti ajja wa maanyi nnyo.

 

Mpamire eyabadde yeenaanise engoye ezifaanana n’eza pulezidenti Museveni yayingidde embeera n’ekyuka nga bw’awuubira ku bantu ng’awerekeddwaako n’abaserikale era abangi baasoose kulowooza nti Museveni yennyini y’azze era baabuuse amaze kutuuka ku sjiteegi.

Olwatuuse ku siteegi abantu emitima ne gibbadda mu nteeko era bangi katono enseko zibatte kyokka ye yasigadde ku mulamwa okutuusa bwe yamaze okwogera era oluvannyumma ne yeggyawo abantu n’abalekera bibbo bya nseko.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });