Amawulire

Twagala kwepiica.

Bayibuli mu kitabo ky’olubereberye 1:28 egamba nti , “Katonda n’abawa omukisa , Katonda n’abagamba nti “mweyongerenga , mwalenga , mujjuze ensi , mugirye : mufugenga ebyomu nnyanja , n’ebibuuka waggulu , na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.

Abasumba ne baffaaza mu Eklezia Katolika abagambibwa okuba nga baaloza ku kibala kwe beesigamye  okusaba Paapa Francis abakkirizze batandike okuwasa mu butongole kisobole okukendeeza ku misango gy’obwenzi mu baffaza egiswza n’okutuukiriza ekirago kya Katonda ekyo.

Buli ffaaza akuba ebiragaano bisztu mu maaso g’omusumba amutwala omuli , okubeera omwavu mu mwoyo , obutukuvu n’obuwulize.

Mu biragagaano bino , ekiragaano ky’obutukuvu (obutawasa) kitwalibwa nga kikulu nnyo okusinga ku biragaano ebirala.

Buli ffaaza oba munaddiini akuba ekiragaano kino , bamutegekera aw’okwebaka mu Eklezia mu maaso ga alutaali era yeebaka yeevuunise wansi ng’akabonero nyi kati awasizza Kristu obulamu bwe bwonna.

Bino bikolebwa nga bwe bamuyimbira ennyimba za mwoyo mutukirivu  n’okukowola abatukirivu okumuyamba obutakola obutakola bibi , era bino oluggwa , faaza oba Omusisita abeera takkirizibwakuddamu kwebaka na mukazi oba n’omusajja yenna okutuusa okufa.

Eklezia eri mu kusoomoozebwaol’abasumba abatandise okukuma omuliro mu baffaaza be bakulembera n’okussa Paapa ku ninga nga baagala akkirize baffaaza bawase , ekintu Roma kyerinaokusooka okuwa obudde nga yeetegereza , okwewala okusobya ennono Eklezia kw’ezze etambulira ekiseera kyonna.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top