Amawulire

UNMA erabudde ku mbeera y’ennyanja Nalubaale egenda okukyuka .

Abavubi ku mwalo gwe Kimmi ku kizinga Koome mu District ye Wakiso bakedde ku muyiggo ogwa bavubi bannabwe abaagudde mu Nyanja akawungeezi k’e ggulo.

Eryato mwebabadde batambulira lyakubiddwa omuyaga neribbira mu nyanja Nalubaale.

Abavubi bagamba nti bakategeerako munabwe omu  Jajja Ronnie eyabadde nebanne nga bagenze okutega obutimba, Engine y’e lyato mwebabadde batambulira nekwata mu Butimba wakati mu nnyanja, ekyaviiriddeko amayengo okubikka eryato neribbira.

Wabula ekitongole ekyekeneenya embeera yóbudde mu ggwanga ekya Uganda National Meteorological Authority (UNMA) kirabudde ku mbeera y’ennyanja Nalubaale egenda okukyuka olw’amazzi ageyongedde n’omuyaga ogw’amaanyi ekiyinza okuvaako obubenje ku nnyanja.

Yusufu Nsubuga omukugu mu UNMA agambye nti embeera ye nnyanja yakwongera okwonooneka okutuusa sizon y’enkuba ng’eweddeyo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });