Amawulire

Wuuno omugagga w’omu Kampala bamukutte n’omupangisa.

Omugagga w’omu Kampala akiguddeko, akwatiddwa lubona ng’ali mu kaboozi n’omukyala omupangisa.
Omugagga Katende y’omu ku basuubuzi b’omu Kikuubo mu Kampala era alina amayumba agapangisibwa mu bitundu bye Kampala eby’enjawulo.
Katende alina amayumba mu bitundu bye Lugoba, Kawempe era abatuuze bagamba nti ebigambo birudde nga bitambula nti Katende ayagala omupangisa.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, Katende yakiguddeko, omusajja ng’avuga bodaboda ku kyalo kye Lugoba bwe yamukutte ng’ali mu kaboozi ne mukyala we.
Omusajja ategerekeseeko erya Mike agamba nti abadde afuna amawulire nti Landiloodi Katende amwagalira omukyala.
Mike agamba nti ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, yafunye essimu nti Katende ayingidde mu loogi ne mukyala we.
Okutuuka ku loogi, ng’emmotoka ya Katende eri mu pakingi ng’omugagga ayingidde munda.
Yasabye omu ku bakozi ku loogi okutegeera ekisenge Katende mwali nti yabadde amutumye essimu ze, okutuuka ku ‘Room 23’ nga bali mu kwepicha.
Yakubye oluggi ng’omukyala ali n’omugagga banyumirwa essanyu ly’oku nsi.
Abakozi ku loogi okudduka okutaasa embeera, nga Katende ali mu kutya era oluggi okugulwawo ng’omusajja yenna atuyanye.
Katende yavudde mu loogi wakati mu kuswala wabula kigambibwa omugagga yawadde Mike ssente obukadde 20 okutangira ensonga okugenda mu mawulire n’okusobola okutaasa amakaage.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top