Amawulire

Yiino ensonga lwaki Kabaka yagenze mu Masiro.

Kabaka Ronald Mutebi II eggulo yagenze mu Masiro e Kasubi n’alambula emirimu egy’enjawulo egikolebwa n’okumanya okusereka enyumba ya Muzibwazaalampanga we gutuuse.

Katikkiro w’Amasiro,David Nkalubo ngali wamu n’Abagiriinya ne Musenero be baalambuzizza Kabaka emirimu n’ayingira munda mu Muzibwazaalampanga n’oluvannyuma n’alambula ebyuma ebizikiriza omuliro ebyaweebwayo gavumenti ya Japan.

Olwavudde eyo n’alambula ttanka z’amazzi n’ennyumba Bujjabukula (eno ye nnyumba eri ku mugguukiriro ng’oyingira mu Masiro,ekuumibwa Mugiriinya)

Yasiimye Abagiriinya abakoze omulimu n’agamba nti omulimu gwe bakola guweesa obwakabaka ekitiibwa ne yeebaza gavumenti ya Japan okuwwyo ebyuma ebizikiza omuliro.

Omwezi oguwedde,Kabaka yasisinkanye abakungu ba UNESCO mu Lubiri e Mmengo n’asaba Amasiro g’eKasubi gaggyibwe ku lukalala lw’ebintu eby’omuwendo ebiri mu mbeera ey’akatyabaga.

Abakungu bano Kabaka ya bajjukizza omuliro ogwakwata Amasiro g’e Kasubi nga March 16,2010 n’agamba nti gwakosa n’okuzingamya ebintu bingi.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });