Amawulire

Bannauganda abagenda e Denmark bakyasobeddwa.

 

Minisiture evunanyizibwa ku nsonga zomunda mu ggwanga ezzemu okuwandiikira ekitongole ekirungamya ku byetambula bye nnyonyi  munsi yonna ki International Civil Aviation Organisation.m okulungamya Dermark ekyaganye okuwa bannauganda Visa ezibakkiriza okugendayo, olwa paasport ya Uganda ezaakakyusibwa.

Ministry ye ensonga zomunda mu ggwanga lino, yakyusa passport ya Uganda okusaamu technologiya ow’omulembe, era olukusa bagamba lwabaweebwa ekitongole ekitwala eby’ennyonyi munsi yonna ki International Civil Aviation Organisation oluvanyuma lwokuwayo ensonga zabwe kukukyusa passport eno.

Wabula Denmark ekyaganye okuwa bannauganda visa mu passport empya zino,ng’egamba nti ekyalina byeyekenenya.

Embassy ya Denmark mu East  Africa esangibwa mu kibuga Nairobi ekya Kenya.

Omwogezi wa ministry ye ensonga zomunda Simon Peter Mundeyi agambye nti passport terina buzibu bwonna, wabula asabye bannauganda okubawayo wiiki emu nga bwebongere okwogerezeganga ne ggwanga lya Dermank okutereeza embeera eno, n’agamba nti yo passport terina buzibu bwonna.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top