Gavumenti erambise abagenda okufuna ku ssente za Covid nga ku bano kuliko abakola mu ttakisi, bakanaabe , abasomesa mu masomero g’obwannanyini, abeettisi b’emigugu , aba saluuni , abafumbi b’emmere n’abala abakola emirimu gy’emmere ya leero.
Bwe yabadde ayanjula enteekateeka eno Betty Amongi minisita w’ekikula ky’abantu yagambye nti ekitongole kya UBOS kye kigenda okukola omulimu gw’okubala abantu nga bayambibwa ba ssentebe b’ebyalo nga bagenda kutambula kyalo ku kyalo okunoonya abo abagwa mu bantu abawejjere.
Yakakasizza nti bagenda kugoberera mannya agali ku ndaga muntu okulaba oba gakwatagana naago geyawandiisa mu ssimuye. Abanaazuulibwa nga amannya tegakwatagana, naye nga ali mu bibinja bya bantu bebanoonya waliwo enteekateeka endala gyebataddewo eya Post bank, abagenda okujja mu byalo basisinkane abantu bano nabo baweebwe obuyambi era okugaba ssente kutandika nkya ku lwokubiri nga 6 era abantu abawejjere basuubire okufuna ssente zaabwe.
Alabudde abagenda okufuna ssente zino, okuzikozesa obulungi baleme kuzonoona kubanga singa wanaabeerawo okwongezaayo omuggalo gavumenti tegenda kwongera kubawa ssente ndala.
Mu ngeri yeemu balabudde abantu ababadde beesunze okulya ku ssente za gavumenti nga sibawejjere tebasembera ku layini eno enteekateeka siyamwe, mwe mwesobola.
Gavumenti yataddewo obuwumbi 53 bw’egenda okukozesa okugabira abantu abawejjere mu maka agasoba mu 500,000 nga buli maka gagenda kuweebwa emitwalo 10.
Aba boodabooda n’abalala abagenda okufuna ku ssente zino enteekateeka eno bagikubyemu ebituli nebagamba nti tegenda kubayamba kubanga abaweereddwa omulimu gw’okubanoonya tebabamanyi bagenda kuwandiika balala ne basaba gavumenti ekwatagane ne bassentebe baabwe ababakulembera banoonye abo abantu abatuufu abalina okufuna obuyambi buno.
Chris Baryomunsi minisita wa tekinologiya n’okuluŋŋamya eggwanga alabudde abagenda okufuna ku ssente zino obutazinywamu waragi wabula bazikozese mu mmere n’alambula abafumbo obutazikweka.