Ebyobulamu

Eklezia n’ekanisa bafulumizza ebiragiro ebikambwe eri bafaaza n’ababuulizi

Eklezia n'ekanisa bafulumizza ebiragiro ebikambwe eri bafaaza n'aba..

Abakatuliki n’abakulisitaayo bawadde bafaaza n’ababuulizi ebiragiro ebikambwe bye balina okugoberera okusobola okwetangira okufuna n’okusasanya ekirwadde Kya covid-19.

Omusumba w’essazza lye masaka Serverus Jjumba afulumizza ebiragiro ebikambwe eri ba faaza bonna musazza lino, Ono ategezezza SSEKANOLYA ku ssimu nti,”wano mu buganda abantu babeera nnyo n’abafiiriddwa  omuli okubakubagiza, okubabudabuda mumbeera ezenjawulo awamu n’okubasuzza.

Mumbeera eno gyetulimu ey’ekirwadde ekikambwe,nsaba abo ababeera bafiiriddwa nga balina obusobozi, emirambo gyabantu babwe okujisuzza mu gwanika okusobola okwetangira okufuna n’okusasanya obulwadde. Ono era alagidde nti,” Bwanamukulu yekka yalina obuyinza okusabira omufu ng’enkola ebaddewo eyabafiruddwa okwefunira Faaza Yenna oba omusomesa okusabira omugenzi eyimiriziddwa bunnambiro.

Ssabalabirizi wa Uganda Dr.Steven Kazimba Mugalu yagambye SSEKANOLYA nti” ffe ng’ekkanisa twafulumya dda ekiwandiiko eri abalabirizi n’ababuulizi bonna okukomya okwetaba kumikolo egyekika ekyo. Wabula bwabeera waluganda, twabasaba obutamala ddakiika 30 mu kuziika, kuba bangi abeetaba kumikolo nga gino nga balina ekirwadde.

Gyebuvuddeko omutukuvu paapa Francis yalalika ba faaza bonna mw’eklezia okubeera okumpi n’abalwadde naddala aba covid-19 omuli okubabudabuda n’okubawa amasakaramentu, ekintu ekyabelarikiriza ennyo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top