Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asabye abo bonna abakwatibwako okutandika okulowooza ku kukyuusa ebyenjigiriza bya Uganda kuba bikyali ku musingi gw’abafuzi b’Amatwale okutalina kyamaanyi kyegusobola kuyambako okuleetawo enkulaakulana.
Bino Museveni yabyogeredde Kololo bw’abadde aggalawo omusomo gw’abakulu b’amasomero okuva mu West Nile, Lango ne Acholi ogwayindidde e Kololo ku Ssande.
“Olw’okuba kati neegattiddwako abakulu b’amasomero, tugenda kuggya abantu baffe mu bwavu. Kati obubaka obuggya abantu mu bwavu busobola kuva wa? NRM ebadde egamba abantu nti amakubo gali ana okutuukiriza kino okuli; Okulima okw’ebibalo, Amakolero, empeereza awamu ne Tekinologiya. Bwokola bino osobola okukyuusa ensi nga oyise mu ngeri gy’okolamu bizineensi,” Museveni bweyategeezezza.
Okusinziira ku Museveni ebyenjigiriza bikulu nnyo mu nkulaakulana y’ensi naye birina kuba ebyo byennyini ebituufu eri abantu b’eggwanga eryo nga bituukana bulungi n’obwetaavu bwabwe.
“Ekizibu kyetulina be bantu abafuna ebyenjigiriza ebyabafuzi b’Amatwale. Batutendeka kunoonya mirimu egya woofiisi naye bw’okola kino tosobola kusigaza balimi, bakukolera bintu ebyenjawulo olwo abo ab’ebibalo banaabala ki?” Museveni bweyaabuzizza.
Museveni agamba nti ebyenjigiriza ekika kino bizingamiza ebyenkulaakulana mu Afirika nga abantu ababiyiseemu omugaso gwabwe gulabise nnyo gyebagenze okukuba ebyeeyo.
Ono yannyonnyodde nti waliwo amawanga mu Bulaaya agakyuusa ebyensoma nebasobola okulaakulana nga tokyasobola kusangayo bannyini ttaka nabakopi nga bwegwali edda.
Museveni yagasseeko nti singa ebyenjigiriza bibeera bituufu, osobola okukyuusa endowooza y’abantu nebagaggawala nga batondawo obugagga nga bayita mu makubo 4, NRM geyalaga nebalekera okukolera olubuto lwokka.
Pulezidenti Museveni asabye abasomesa okukolera awamu okusobola okulaakulana era balwanyise omuntu yenna agezaako okubawulayawula nga asinziira ku mawanga.
Minisita w’ebyenjigiriza Janet Museveni yategeezezza nti buvunaanyizibwa bwa basomesa okubangula abantu eyo gyebabeera okusobola okuwagira enkulaakulana nabasaba obutakomya kusomesa mu bibiina byokka.
Eyakiikiridde abasomesa era akulira essomero lya Laroo Seed Secondary School e Gulu, Okwi Pamela Peace yategeezezza nti abasomesa bakkiriziganyiza okuwagira enteekateeka ya ‘4 Acre Model’ nga bakutandikira ku kuteekawo ffaamu n’ennimiro ezisobola okubangula abayizi awamu n’abantu b’oku kitundu ku nnima ey’omulembe.
Enteekateeka eno yatandika 13th August 2022 nga yeetabiddwamu abakulu b’amasomero abawera 300 era nga basuubirwa okuyambako okukyuusa endowooza y’abantu n’abayizi mu bitundu ebyenjawulo.