Ebyobufuzi

Kyagulanyi atabukidde aba NEMA

Akulira ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine atabukidde gavumenti awamu n’ebitongole by’ ebyokwerinda olw’okusanyaawo bizineensi z’abaavu  mu Lubigi kyokka nebalekamu abagagga.

Kino kiddiridde ab’ebyokwerinda okuli poliisi n’ Amagye okuyambako ab’ekitongole ekirwanirira obutonde bwensi ki NEMA nebagoba abantu bonna ababadde beesenza mu lutobazi lwa Lubigi awamu n’ebitundu ebirilaanyewo.

Bano ababadde bambalidde emmundu,  enkumbi, emiggo awamu namajambiya bakoonye awamu n’okugoba abantu bonna bebasanze mu ntobazi era nebimu ku bintu byebabadde bakozesa nebiwambibwa.

Abamu ku bantu abeesenza mu Lubigi basangiddwa nga balimayo emmere, bazimbayo n’ennyumba ez’obuwangaazi.

Kyagulanyi agamba nti wadde kisaanye okukuuma obutonde naye ate kirina okukolebwa kubuli muntu so si kutaliza bagagga ne kampuni z’abanene kuba n’abaavu banoonya kubaawo oluvannyuma lw’okukosebwa ekirwadde ki COVID-19.

“ Kikwasa ensonyi okulaba nti gavumenti eno egenda mu maaso nokuteekesa mu nkola etteeka ku baavu bokka ng’ etaliza abanene mu gavumenti n’abagagga wadde nabo bali mu ntobazi awamu n’embalama z’ ennyanja mu bukyamu,” Kyagulanyi bw’agambye.

Bo aba NEMA bagamba nti entobazi zonna za gavumenti era zirina kukozesebwa nga amateeka bwegalagira neewera okugenda mu maaso n’ebikwekweto bino okutuusa nga abantu abesenzaayo bazaamuse.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top