Obwakabaka bwa Buganda butendereza emirimu emirungi egikoleddwa Omulabirizi Ssebaggala mu myaka ekumi n’ebiri kubanga asitudde eby’enjigiriza,eby’obulamu ,enkulaakulana awatali kutunulira bantu kuva bunayira.
Obubaka buno buweereddwa Amyuka Katiikiro ow’okubiri ate nga ye muwanika wa Buganda era n’enkulaakulana Owek.Robert Waggwa Nsiibirwa mukusaba kw’okwebaza Katonda olw’Omulabirizi James William Ssebaggala ne Maama Tezirah Ssebaggala Nakimbugwe okuweeza emyaka kumi n’ebiri ng’abalabirizi ab’okunna mu Bulabirizi bw’eMukono mu Busumba bw’eKisowera mu Bussaabadiikoni bw’eBukoba era ng’ono akulembeddemu omuli gw’okuziimba n’okusereka eKkanisa y’Omutukuvu Stephen Kisowera ku kitebe ky’Obusumba.
Omulabirizi wa Central Buganda wa Central Buganda eyawumula yakulembeddemu omukolo ogw’okwebazisa Omulabirizi Ssebaggala ne Maama Tezirah, Kitaffe mu Katonda Bishop Emeritu Jackson Matovu nga yakulembeddemu omukolo ogw’okusabira omuggo gw’Obulabirizi omupya kubanga ogubaddewo gukoze enyaka asatu mu munanan(38) era wano asabye Abaweereza n’abakristaayo b’Obulabirizi buno okwaniriza n’okuwagira Omulabirizi omugya ow’okutaano.
Bw’abadde atuusa obubaka okuva mu Bwakabaka bwa Buganda, Oweki Nsiibirwa agambye nti kya nsonga okujjagulizaako Obulabirizi bw’eMukono kubanga emirimu emirungi egikoleddwa Omulabirizi Ssebaggala mu myaka ekumi n’ebiri kubanga asitudde eby’enjigiriza,eby’obulamu ,enkulaakulana awatali kutunulira bantu kuva bunayira.
Omulabirizi Ssebaggala mukwogerako eri abantu ba Katonda yeebaziza nnyo bana Mukono olw’obuwagizi bwonna obubaweereddwa kubanga ebintu bingi ebikoleddwa mu Bulabirizi buno n’olwekyo ayinziza byonna mu oyo mu Kristo amuwadde amaanyi era wano ayongedde okukubiriza abazadde okufaayo ennyo eri abaana okusinga okubabonyabonya.
Ye Rev John Musoke Kizito nga ye Musumba w’Obusumba bw’eKisowera yeebaziza nnyo Omulabirizi Ssebaggala ne Family n’abantu ba Katonda bonna abawagidde omulimu guno era n’akubiriza abalala okubegatako okusobola okumaliriza eKkanisa eno ng’omwaka tegunagwako.
Okusaba kuno kwetabiddwako Maama Tezirah Ssebaggala Nakimbugwe awamu n’ennyumba y’Omulabirizi, Amyuka Omukubiriza w’abakristaayo mu Bulabirizi Maama Sarah Kigongo,Provost wa Lutiiko y’Omutukuvu Fiiripo ne Andereya eMukon The Ver Rev Canon Enosi Kitto Kagodo,Ba Ssabadiikoni,Abasumba,Ababuulizi ,Abakulu b’amasomero ,Abakubiriza n’abantu ba Katonda bonna era nga bano basonze obukadde obukunukiriza amakumi asatu mubutaano(35M).