Amawulire

KIRUNDA FARUK: Lwaki Twandikoppye pulezidenti museveni Ne Mp W’e Budaka Okugoba Obwavu

KIRUNDA FAFUK: Lwaki Twandikoppye M7 Ne Mp W’e Budaka Okugoba Obwavu
Okukubaganya ebirowoozo okwamanyi kwatandika kumitimbagano egyenjawulo nga banayuganda beekutuudemu ku kikolwa kya MP Arthur waako mboizi ow’e Budaka mu palamenti eyatabukidde abalonzi okulemerelwa okukozesa obulungi enkola ezitekeddwawo gavumenti omuli okubawereza endokwa z’emwanyi n’ebirime ebirala nga kwotadde n’ebinyonyi okulwanyisa obwavu.
Kino kyabadde kyabuzira nnyo wabula muyuganda kibera kive omukulembeze okubulira abalonzi amazima nga abasing boogera bibasanyusa olwokuba batya obutadamu kubalondaekintu ekiremeza abantu baffe mubwavu ne balemererwa n’okwetuusako obutu obutono obwetagisa mubulamu obwabulijjo.
Obusuungu bw’omubaka butegerekeka kubanga Budaka mulirwanwa wa palisa ne kibuuku pulezident Museveni mu 2022 gyeyasalawo okutongoleza enkola eno eya PDM era nakubiriza banayuganda bonna okukoma okukolerera emmere eyokulya wabula bafiisengawo n’ey’okutunda era n’okubako ekintu kyebakola ekibaleetera ssente . Abakulembeze engeri eno tulina okugisasanya mubantu tubakake okutandika okutya obwavu n’obutabwesembereza
TWENYIGIRENYO MU NKOLA ZA GAVUMENT
OKUYOMBA kwa MP Mboizi kwanzijukiza enkola nga bonna bagagawale, entandikwa n’endala ezireeteddwa gavumenti okuggya bannayuganda mu bwavu wabula ekigendererwa kyazo ne kitatukirizibwa bulungi nga bwekyasubirizibwa embeera eno yeretedde bannayuganda okusigala mubwavu wabula ekigendererwa kyazo ne kitatukirizibwa era KIRUNDA FARUK ayongerako nti emeera eno yeretedde abaseketerezi era banakigwanyizi nadala abo kuludda oluvuganya gavumenti okutandiika okukuba ebituuli munkola ya gavumenti eno eya PDM nti terina terina kyegenda kukyusawo mukulwanyisa obwavu ne batamanya nti bwadde ziri enkola ezasoka ezaleetebwa gavumenti zaagana waliwo abazenyigiramu abaziganyurwamu nga basobola bulungi okuziwera obujulizi nti zaabayamba kinenene okukyusa obulamu kino kirina okutegerekeka ntu buli ntekateka eteekebwawo gavumenti okulwanyisa obwavu kibera kyakuyigirako okusobola okuganyulwa muntekateka ezidako . mukiseera kino ekibuuzo ekinene kiri nti lwaki entekateka zinno bannayuganda tebaziganyurwamu nga gavumenti bwebera etegese ? eky’okudamu kyangu nti enkyukakyuka mubutale emiwendo egigulilwako mubifulumizibwa n’enkyukakyuka muby’enfuna eziberawo okwetolola ensi yonna
KIRUNDA AGAMBA ‘’TUTUKIRIRE ABALI MUBWETAVU
Olubimbi lw’okulwanyisa obwavu lulina okukyuka omuntu yenyini ali mubwavu tumutukirire y’abeera akulemberamu okulwanyisa omulabe amusemberedde nga eno y’ensonga lwaki nkubiriza omubaka Mboizo okutandika okukola okunonyereza ku bantu abo abafuna ebikozesebwa mu kulwanyisa obwavu mukitundu kye ategeere engeri gyebakozesamu kino kigenda kuyamba okusalira ekizibu kino amagezi nga ategedde nti abantu olwabawa ebikozesebwa balowoza nti birabo byebalina okulya obuli nga tebalowozeza okubizalisamu oba tebasooka kubangulibwa nga bibawebwa bannayuganda bonna balina okukitegera nti tewali muntu yenna yazalibwa kubera mwavu oba omugagga amannyi ffe abakulembeze tulina okugateka kukukyusa endowooza z’abantu baffe, Mp yawadde amagezi nti tekiwa makulu okutekka obuwumbi bwa ssente mubantu abatasobola kuzikozesa okuza amagoba nga y’ensonga lwaki yasembye ssento zitekebwe mu plojekiti zagavumenti eziyambira awamu abantu
FARUK AYONGERAKO NTI OBUBAKA BWA M7 TUBWEFUMITIRIZEKO
PULEZIDENTI Museveni gyebuvuddeko azze ategezza egwanga nga kumulamwa gw’okukola obugaga mukifo k’okulya obugaga era atera okukubiriza abakulembeze okutambuza enjiri y’ebyobufuzi ey’okutondawo obugaga mubantu n’abasaba nasaaba n’abalonzi obutawuliliza banabyabufuzi abalowoleza mukubanyunyuta n’okusiga obukyayi mumawanga era akakasa bannayuganda nti tewali agenda kuganyulwa mubyanfuna bya gwanga nga talina kyabagatako nga aleeta ebyamaguzi kukatale okufuna sente bannayuganda balina okwebuza nti ddala akakadde ka ssente gavumenti z’empadde mu PDM okukyusa obulamu bwange nkateke mubintu ebikola amagoba oba kukakyakalamu nga sirowoza ku bannayuganda abakalindiridde nabo okukewola ffenna bannayuganda tulina okutandiika okwegomba abantu abatutumuse nga pulezidenti Museveni alina ente enyingi z’alunda wabula ng’akyayayana okwongerako ate nga talina kyajula mu nsi naye ggwe atalina kyolina lwaki olowooza ng’eyatuuka edda, twetaga okukyusa endowooza zaffe mu lutalo lw’okulwanyisa okukyusa endowoza zaffe mulutalo lw’okulwanyisa obwavu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });