Gavumenti eragidde amasomero gonna okuwa abayizi mu budde era bafube okulaba nti amasomero gonna gaggalawo mu budde olusoma olw’okusatu.
“Kkabineeti ekkiriza ekiteeso okuva mu minisitule y’ebyobulamu okukendeeza ku ttaamu y’okusatu nga bagisalako wiiki bbiri nnamba okusobola okumalawo omujjuzo mu masomero nga era kisale emikisa gy’ Ebola okusaasaana mu bayiz, abasomesa awamu n’abantu abalala,” minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza bya Pulayimale, Dr Moricu Kaducu bw’ ategeezezza bannamawulire.
Minisita Kaducu agamba nti kino kivudde ku kuwabulwa kwebafunye mu Minisitule y’ebyobulamu okusobola okuziyiza ekirwadde kino okwongera okusaasaana era kino kitwaliramu, Nnasale, Pulayimale ne Sekendule nga bano bonna balina okubanga baggaddewo nga Novemba 25.
Ono asabye abakulira ebyobulamu ku disitulikiti, mu Munisipaali n’ebibuga okukwasisa ekiragiro kino wonna mu ggwanga.
Dr Kaducu alagidde abakulira amasomero okutegeeza abayizi n’abazadde ku nkyukakyuka eno baleme kukosebwa.
Kinajjukirwa nti oluvannyuma lwa Ebola okuba
Kino kiddiridde ekirwadde ky’ Ebola okubalukawo nga kati abantu abawera 132 bebalina ekirwadde kino, 61 basuuse ate 53 balufiiriddemu.
Waliwo abantu abalala 18 abali mukujjanjabibwa e Mubende n’ Entebbe era nga ekirwadde kino kikyali kyabulabe nnyo e Mubende ne Kassanda gyekyatandikira.
Amasomero 11 gegazuuliddwamu ekirwadde kino nga attaano gali Kampala ate amalala gali Wakiso ne Mubende .