Amawulire

Omukulu w’ekika ky’ Endiga akyali Lwomwa Bbosa – Minisita Kyewalabye.

Obwakabaka  bwa Buganda busazeewo ekyenkomerede ku babadde bakaayanira obukulu bw’ekika ky’ Endiga nebukakasa  Omutaka Lwomwa Bbosa Daniel okubeera omukulu w’ ekika omutuufu.

Minisita w’Obuwangwa n’Ennono mu Buganda,  Owek. David Kyewalabye Male  ategeezezza nti ensonga z’omusango guno zikyali wa Ssaabataka era ye yekka agenda okusalawo ekyenkomeredde.

Okusinziira ku Minisita Kyewalabye ensonga zino zakusigala nga bwezibadde era Lwomwa Bbosa Daniel gwebasuubira okukiika mu lukiiko lw’ Abataka.

Owek. Kyewalabye asabye ab’ekika ky’Endiga okusigala nga bakkakkamu n’okugumiikiriza okwewala okuwebuuka nokukola ebintu ebiyinza okuvaako okwawulayawula mu bazukulu.

Kinajjukirwa nti mu musango guno Kkooti ya kisekwa yali yalagira olunyiriri lwa Muyiisa okukola enteekateeka okuzuula Lwomwa era nga wakyasobola okubaawo okujjulira.

Kino kyaddiridde  Luggya Bbosa Tabula okuwaaba mu kkooti eno nga agamba nti Owessigga Ssekoba n’Owessigga lya Namusota bekobaana nebabulankanya obwa Lwomwa  era ono yaleeta obujulizi era kkooti eno nekaanya naye.

Ensala eno yali ewa omukisa abaali tebamatidde nayo okujulira mu wofiisi ya Ssaabataka mu nnaku asatu nabo kyebakola nebatuusa okujulira kwabwe nga 9/Sept/2022 ng’abasaba okusazaamu ensala eno wabula ensala ya Ssaabataka ku nsonga eno ebadde tenabaawo.

Ekiwandiiko ekifulumiziddwa kiraga nti abaali bawaaba omusango bakola kikyamu okutandika okutegeka omukolo gw’okutuuza Lwomwa omuggya ku butaka e Mbaale nga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka tanawa nsala ye ku kujjulira okwakolebwa abaali bawakanya ensala ya kkooti ya Kisekwa.

Ekiwandiiko era kirambulula nti era kyali kikyamu Ow’Olunyiriri lwa Muyiisa  okugenda mu maaso n’enteekateeka zino nga tanafuna kuddibwamu okuva ewa Katikkiro gweyali awandiikidde nga 26/08/2022.

Kitegeerekese nti singa Ssaabataka awa ensala era nga waliwo aba tamatidde basobola okuddamu okujulira ekiyitibwa okulinya mu nkanamu ensonga neziddamu okweneneenyezebwa Omutanda.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });