Omukulu w’ettwale ly’e Kawempe, sheikh Muzamir Ssemwanje ajjukiza abasiramu be Kawempe okukuuma ebintu by’obusiramu mu kifo ky’okubisanyawo.
Ow’ettwale okusaba kuno akukoledde ku masgid Katereogga ogusangibwa e Kazo Angola mu gombolola ye Kawempe mu kusaala Juma.
Sheikh Semwanje era ayanjulidde abasiramu akakiiko kakulembera nako, ono agambye nti ezimu ku ntekateeka ze balina mulimu okuddukirira ba mulekwa ne bannamwandu.
Kyokka ono atangaazizza nti bamulekwa abamu balina obusobozi obubalabirira ate nga ne bannamwandu abamu bagagga ffuge nga bano tebali mu bantu be bagenda okuyamba.
Ye sheikh Ahmad Ismail Mayambala asomye kutuba n’akutira abazadde okuyigiriza abaana eddini basobole okumanya Katonda wabwe. Ono ategezeezza nti basobola okukikola nga bassawo empaka z’okusoma eddini ewaka asinga nawebwa ebirabo.
Oluvannyuma balambudde abasiramu abalwadde mu kitundu kino okuli haji Muhammad Tamale.