Amawulire

Omubaka Zaake si mumativu n’akakiiko ka Palamenti akamunoonyerezaako.

Omubaka Francis Zaake (Mityana munisipaali) si mumativu n’akakiiko ka Palamenti akamunoonyerezaako ku ngeri gye kaatandiseemu emirimu olw’okumuyita ku lunaku olulala ate ne bamulindirira ku lunaku olw’enjawulo.

Kiddiridde ssentebe w’akakiiko akakwasisa empisa, Abdu Katuntu okutegeeza ku Lwokubiri nga December 13, nga bwe baali basuubira Zaake okulabikako yennyonnyoleko n’atalabikako nga tewali nsonga yonna gye yabawa.

Zaake  yalaze Bukedde ebbaluwa eyamuwandiikirwa Agatha Akankunda ku lwa Clerk wa Palamenti eriko ennaku z’omwezi nga December 7, 2022 nga bamuyita okugenda mu kakiiko akakwasisa empisa ku Lwokusatu nga December 14, 2022.

Kyokka kyamwewuunyisizza eggulo bwe yabadde amaze okweteekateeka okugenda mu kakiiko ate bannamateeka be ne bamutegeeza nti baafunye obubaka obubategeeza nti akakiiko kaagenze mu luwummula.

Ensonga yazikwasizza bannamateeka be abakulemberwa Erias Lukwago bamuwabule ku ky’alina okuzzaako.

Ekyakoleddwa akakiiko, Zaake yagambye nti kyamwewuunyisizza kuba yawulidde obulimba nga busaasaanyizibwa n’ekigendererwa ky’okumulaga nga omugyemu.

“Akakiiko ndi mwetegefu okukagendamu kuba nkimanyi nti sirina musango gwe nazza. Kyokka n’akakiiko kalina okubeera akanjulukufu nga tebakuyita ku lunaku ate ne bamala ne beekyusa.” Zaake bwe yagambye.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top