Abantu 16 bafiiridde mu kabenje nábalala abatannamanyika muwendo mutuufu basigadde nébisago eby’amaanyi.
Akabenje ddekabusa kagudde mu Kabuga ka Adebe KonaKamdin mu district ye Oyam , ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu mu kiro ekikeesezza olwa leero ku ssaawa nga Mukaaga nékitundu.
Akabenje kano kaguddewo oluvannyuma lwa Bus eya kampuni ya Roblyn namba UAT 259/P ebadde eva e Kampala nga eyolekera ekibuga kye Gulu, bwetomedde lukululana namba UAZ 381/A ne UBD 318/C , nga kigambibwa lukululana eno ebadde etikkibwako byamaguzi.
Abakoseddwa baddusiddwa mu ddwaliro lye Atapara okufuna obujjanjabi obusookerwako, era ng’abamu ku bafudde babadde batwalibwa mu ddwaliro.
Abantu abafudde mu kabenje kano tebannamanyika mannya, era emirambo gyaabwe gitwaliddwa mu ggwanika lyéddwaliro lya Anyeke Health IV okwekebejjebwa, nga nÓkunonyereza bwekugenda mu maaso.
Omwogezi wa police mu bendobendo lya North Kyoga Patrick Jimmy Okema, ategeezezza nti akabenje kano okusinziira ku batuuze ababaddewo nga kagwaawo kavudde ku mugoba wa mmotoka lukululana ebadde etikka ebyámaguzi, ebadde esimbye obukyamu mu luguudo.
Kano keekabenje omwakafiira abantu abangi okuva omwaka 2023 gutandika, nga akasembyeeyo kaagudde Lwengo nemufiiramu abantu 10 wiiki ewedd