Amawulire

Mufeeyo ku neeyisa y’abaana bammwe .

Bino byayogeddwa mu ggunjuliro ly’abaana omubaka wa Makindye East, Derrick Nyeko lye yabadde aggalawo ku Ssande erimaze omwezi gumu ku ssomero lya Merowa Junior School e Kabalagala.

Muno batendekeddemu abaana enneeyisa mu bantu wamu n’okukola  emirimu gy’awaka.

Nyeko yagambye nti emikutu emigattabantu gyongedde okukyusa enneeyisa y’abaana naddala abali wakati w’emyaka 14 okutuuka ku 18 nga abazadde balina okutuula nabo babannyonnyole ensi nga bw’etambula bamanye n’ebibasoomoza mu bulamu bwabwe.

Derrick Nyeko

Yategeezezza nti mu mbeera y’okwogera n’abaana kijja kuyambako n’okutangira embuto mu baana abatanneetuuka ze bafuna nga tebeeyagalidde

Hassan Katende kkansala akiikirira Kabalagala ku ggombolola yakuutidde abazadde okwongera okutendeka abaana eky’okukola n’okwongera okulondoola enneeyisa yaabwe nga kye kijja okuyamba okubakuuma nga bantubalamu.

Sharifah Ahimbisibwe yasabye abazadde badde ku nnono n’obuwangwa kisobole okuyambako okuzza empisa mu baana.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top