Amawulire

Abayizi e Iganga tebajjumbidde okusoma.

Abayizi mu masomero a’genjawulo e Iganga omuli aga gavumenti n’agobwannannyini abayizi tebajjumbidde olusoma olusoose, abasomesa ne bakubiriza abazadde okusindika abaana baabwe okusoma.

Ku ssomero lya gavumenti erya  Iganga Municipal Council PS erimu ku galina abayizi abangi, abasinga tebalabiseeko nga okusinziria ku amyuka akulira essomero lino, Proscovia Amuwulira agambye nga bwe balina abayizi 1863 wabula abatandise babadde 608 bokka

Asabye abazadde okusindika abaana n’agamba nti baakubawa ekyokulya eky’obwereere mu wiiki eno esooka okusobola okubasikiriza.

Ne ku ssomero lya gavumenti  Kasokoso PS nalyo eririna omuwendo gw’abayizi abangi batono be batandiseeko.

Akulira essomero lino, David Sizomu ategeezezza nga bwe balina omuwendo gw’abayizi 1100 nti wabula 350 bokka be batandise n’asaba abazadde abalina okusoomoozebwa okubatuukirira.

Embeera yeemu y’ebadde ne ku massomero g’obwannannyini okubadde; Hill Side P/S ne Sula High School nga nabo abayizi tebajjumbidde kutandika.

Akulira Sula High School, Umar Kisambira agambye ng’ abayizi baabwe ebitundu 30% tebalabiseko n’akubiriza abazadde okuzza abaana ku ssomero kyokka n’alabula ku masomero omuli ebikolwa ebikyamu.

Ate ow’ebyensoma ku ssomero Hill Side PS, Pascal Okoth asanyukide omuwendo ogutandise nti balina essuubi nti abaana babwe baakukomawo.

Eky’omuwendo omutono gw’abayizi abatandise mu kitundu,  kkansala w’eggombolola Northern Division mu kibuga Iganga Samuel Mukisa akitadde ku mbeera y’obwavu ne lw’omusolo omunene gwe babinika abakola obubinesi obutono.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top