Poliisi ezinduukirizza akabinja k’abavubuka abagambibwa okutigomya ab’omu Kawempe ne babakwata.
Abaakwatiddwa amakanda babadde baagasimba ku kafo akamanyiddwa nga ku Mitti
Ebiri nga we bava okutigomya abantu nga babanyakulako amasimu n’obusawo. Okukwatibwa kyaddiridde abasuubuzi n’abakulembeze mu butale okubawaako obujulizi nga bwe babamazeeko emirembe nga babatulugunya naddala abakeera okugenda okukola n’abannyuka ekiro.
Abaakwatiddwa ye; Iran Ssekajja 20, Arafat Sserwanga, Steven Wasswa, Justus Guminsiriza, Ezekeeri Kato, Isma Ssekanabo, Robert Ssendita, Abdraham Muhanguzi ne Gordon Tumusiime nga bano bagenda kuyamba ku poliisi mu kuzuula be babadde bakola nabo.