Ababbi, abatamanyiddwa bebijambiya, bayingiridde amaka g’omusirikale Faridah Nampima ne batta omukuumi we ne batwala ebintu ebiri mu bukadde 9.
Ababbi, bazze nga bakutte ejjambiya n’embwa era basobodde okumenya okuyingira Kasato Estate okubba ebintu.
Nga bayingira, basobodde okulumya omukuumi Matia Kintu Salongo myaka 74 ng’akubiddwa ennyondo ku mutwe.
Ssalongo afiiridde mu kkubo nga bamutwala mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.
Nampiima, agamb nti abatemu baabalagidde okuteeka emitwe ku ttaka oba sikyo, bagenda kuttibwa.
Mu nnyumba batutte ebintu eby’enjawulo omuli TV ‘flat-screen’ yinki 65 ekika kya Sonny ng’ebalibwamu obukadde 4, essimu iPhone 12 Promax (black) eri mu bukadde 4, Samsung 2, ensawo omubadde emitwalo 30 nga byona biri mu bukadde 9.
Luke owoyesigire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi eyingidde mu nsonga ezo, okunoonyereza.
Mu ggwanga, Nampiima abadde amanyikiddwa ng’omwogezi wa Poliisi y’ebidduka mu ggwanga wabula agava mu Poliisi galaga nti yakyusiddwa.
Ate omusirikale Ivan Wabwire eyatta munnansi wa Buyindi Uttam Bhandari, sabiiti ewedde ku Lwokutaano ku Raja Chambers mu Kampala, aguddwako emisango gy’okutta omuntu n’amasasi.