Amawulire

Minisitule eweleddwa akadde okwanjula bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi 2023/24.

 

Olutuula lwa Palamenti olw’okumakya lwongezeddwayo okutuusa mu ttuntu lya leero oluvannyuma lwa Minisitule y’Ebyensimbi okukola ennongoosereza mu mbalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2023/2024.

Ennongoosereza eno ey’olwaleero ebadde yaakubiri okuva kw’eyo eyasooka okwanjulwa mu Palamenti wiiki emu emabega eyava ku ku trillion 50 n’obuwumbi 915 okutuuka ku trillion 51 n’obuwumbi 919.

Leero Palamenti lw’esuubirwa okutandika okwkenneenya embalirira eno bagikubaganyeeko n’ebirowoozo olwo eyisibwe leero lwennyini oba enkya ku Lwokuna.

Wabula Minisita omubeezi ow’Ebyensimbi  Henry Musasizi bw’abadde azze okwanjula embalirira eno, alaze nga bwe wakyaliwo  ennongoosereza endala ezirina okutunulirwa okulaba wa ewalala awetaaga okwongeza ensimbi, awetaaga okutoolwako ensimbi , n’ebirala.

Kino kiviiriddeko omubaka wa munisipaali ya Kira, Ibrahim Ssemujju Nganda era nga y’omu ku babaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti akekenneenya embalirira y’eggwanga okubuuza oba nga ddala kikyetagiisa n’okutuusa kati Gavumenti okuba nga ekyayongera okukola ennongoosereza endala mu mbalirira kyokka nga baagyekenneenya bulungi gye buvuddeko!.

Kino kiwaliriza Sipiika Anita Among okuyimiriza olutuula luno okutuusa mu ttuntu okuwa Minisitule y’Ebyensimbi obudde okweteekateeka obulungu okwanjula embalirira eno bongere okugyekenneenya n’okugiyisa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top