Amawulire

Omwana w’omwaka gumu afiiridde mu muliro e Mbuya.

Omuliro gukutte ennyumba y’omutuuze bbebi ow’omwaka ogumu n’ekitundu n’asirikiramu kw’ossa n’ebintu byonna ebibadde mu nnyumba.

Bino bibadde Mbuya mu Katoogo mu munisipaali y’e Nakawa abatuuze bwe bakeeredde mu kiyongobero ku makya g’Olwokubiri oluvannyuma lw’okufuna amawulire gano.

Omwana asirikkidde mu muliro guno ye Teras Kampala Weere ow’omwaka gumu n’ekitundu ng’ono okufiira mu nabbambula w’omuliro bazadde be babadde tebaliiwo nga baagenze ku mirimu kukola.

Okusinziira ku badduukirize, omwana ono yabadde yalekeddwa ne muto wa nnyina ow’emyaka 13 ng’ono y’abadde amulabirira nga nnyina egenze ku mirimu.

Kigambibwa nti ono abadde aliko by’afumba ku ssigiri ebadde mu nnyumba ng’ono atuuse ekiseera n’abeerako  bye yeetaaga ku dduuka nga wano awaliriziddwa okusibawo ennyumba ne kufulu olw’okutya ababbi abangi abali mu kitundu.

Abatuuze bategeezezza nga ku luggi bwe kubaddeko kateni y’omu mulyango nga kiteeberezebwa nti eno ye yeewubye n’ekwata omuliro oguviiriddeko ennyumba yonna okukwata omuliro ebintu byonna ne biggwawo.

Bazadde b’omwana ono okuli nnyina Olivia Aculu (21) ne kitaawe Nathan Walesa bategeezezza nga bwe babadde baakedde edda okugenda ku mirimu okukola ng’eno amawulire gye gabasanze.

Aculu olubadde okutuuka mu kifo omwana we w’ajjiiridde azirise kyokka n’addusibwa mu kalwaliro okumpi w’afunidde obujjanjabi n’oluvannyuma n’adda engulu.

Kyokka Walesa ategeezezza nti mu kiseera kino basobeddwa tebamanyi we bagenda kutandikira kubanga n’ebintu byonna byasirikidde mu muliro omuli n’ensimbi enkalu ezibadde mu nnyumba.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top