Palamenti ereese etteeka eritongoza obufumbo bw’abawala abeefumbiza n’abalenzi abawalula bannaabwe. Sarah Opendi (mukazi/Tororo) y’aleese ebbago ly’etteeka lino erigenda okwanjulwa mu Palamenti ekiseera kyonna nga likkiriza abantu ababeera bonna okumala emyezi mukaaga n’okweyongerayo okutongozebwa. Ennongoosereza zino ziri mu tteeka erifuga obufumbo erya The Marriage Bill, 2022 era nga Palamenti yamuwa dda olukusa okulibaga n’ekigendererwa ky’okugatta amateeka gonna agakwata ku bufumbo libeere limu.
Opendi era nga ye ssentebe w’ekibiina ekigatta ababaka abakazi ekya UWOPA agamba obufumbo bwa mirundi 7 ku 10 tebuli mu mateeka. Bano balwanirira omuntu maze mu bufumbo ebbanga eriri wakati w’emyezi mukaaga n’emyaka ebiri babeere nga batongoza obufumbo bwabwe.
Enkola eno Opendi agamba eri mu mawanga amalala mangi ng’e Malawi noolwekyo tewali nsonga lwaki ne Uganda tefuna etteeka bwe liti kuba ebizibu bye bimu. “E Malawi tokkirizibwa kwagalana na munno okusukka emyezi omukaaga. Bwe mubeera mwembi okumala emyezi mukaaga amateeka gabeera galina okubatongoza nti muli bafumbo. E Tanzania nayo kye kimu baliko ekiseera kye baateekawo. Si kya bwenkanya okubeera n’omwana wa munno okumala ebbanga kyokka amateeka nga tegabatwala ng’abafumbo olw’okuba temutuukirizanga misoso gya buwangwa na ddiini.
Nathan Byanyima (Bukanga North) eyasembye etteeka lya Opendi yagambye nti lyaleeteddwa okusobola okunnyonnyola byonna ebikwata ku bufumbo nga bituukana n’embeera abantu gye babeeramu. “Amateeka mangi agakwata ku bufumbo agaleeteddwa mu Palamenti kyokka ne gatakola. Kikwasa ennaku okumala n’omwana
wa munno emyaka 12 ng’amateeka tegamumanyi nga mukyala wo,” Byanyima bw’agamba. Mu kiseera kino obufumbo obukkirizibwa mu mateeka kuliko; obwobuwangwa, obw’eddiini n’obwekitala oba buyite obwa Ddiisi (DC).