Amawulire

Abadde aperereza muk’omusajja amwagale n’agaana yeekumyeko omuliro.

Omusajja agambibwa okulwa ng’aperereza muk’omusajja okumuganza n’amugaana avudde mu mbeera ne yeekumako omuliro ne bamutwala mu ddwaaliro e Kiruddu gy’ali mu kufunira obujjanjabi.

Omusajja Ono Faizo Kasirye omukubi wa bbulooka ku kyalo Kazinga mu Nsumbi Kyebando e Nansana, y’ali mu ddwaaliro nga poliisi erinda awone, bamuvunaane okugezaako okwetta.

Kigambibwa nti Kasirye aludde ng’aliko omukyala ategeerekese nga Nnali gw’amaze emyezi 8 ng’aperereza nti kyokka n’amugaana, kwe kukwatibwa obusungu ne yeeyiira amafuta ne yeekolezaako omuliro ogwamwokezza ennyo.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti , omukyala gw’alumiriza, bamuggyeeko sitatimenti era okubuuliriza kugenda mu maaso.

Mu ngeri y’emu era poliisi yakutte abantu abasoba mu 50 mu bikwekweto ebyakoleddwa e Makindye ne mu Makindye Ssaabagabo okuwenja abakyamu.

Oweyesigyire agambye nti mu bikwekweto bino, waliwo emmotoka nnamba UBF 425 Y egambibwa okuba nti baagisanze erimu ebiso, ebyuma ebimenya n’emitayimbwa era  ng’abantu musanvu abaagibaddemu baakwatiddwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top