Amawulire

Muve kubintu bya DNA eyo nkola ya mulabe sitaani – Ssaabadiikoni Ven Canon Kironde.

Ssaabadiikoni w’eLugazi Alabudde abantu ba Katonda abetanira enkola y’okukebeza abaana baabwe omusai (DNA) kubanga eno nkola y’omulabe sitaani eriwo okutabangula emirembe mu maka ag’enjawulo n’olwekyo bandibadde bongera okwesiga Katonda mubuli kimu okusobola okulabirira amaka okusinga okuteekawo obusambatuko.

Okulabula kuno Ssaabadiikoni w’eLugazi, Ven Canon Edward Balamaze Kironde akukoledde mukusaba kw’okwebaza Katonda okw’okujjukira emirimu gy’Omugenzi George William Kalibbala n’okusako omusika Owen Favour Kalibala era ng’ono yazaala omukubiriza w’abakristaayo mu Busumba bwa St Dunstani mu Bussaabadiikoni bwe Nassuuti nga okusaba kuno kubadde Najjemba Wakiso,mu Busumba bwe mu Bussaabadiikoni bwe Natete.

Mu ngeri y’emu ono agenze mu maaso n’akubiriza bana Uganda okufuba okubeera abagezigezi nga bakola emirimu gyabawe kubanga abazadde baabawe babasigamu amagezi mangi.

Wabula ye Omubuulizi Ssewagudde w’eKasangejje yeebaziza Katonda olwa byonna n’okukozesa abaana okutukiriza obuvunanyizibwa bw’eKkanisa okuwaayo ensimba okulaba nga bagula ekifo ekyo era tasobola kwerabira.

Ye Mukyala Millya Luwaga Wanyana nga ye mukubiriza w’abakristaayo mu Busumba bwa St Dunstann yeebaziza nnyo abantu bonna abaze kumukolo guno era alina esuubi nti omusika gwe bafunye agya kukuzibwa bulungi asobole okubalera era n’akubiriza banne okwongera okubeera obumu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top