Amawulire

Abantu 10 bafiiridde mu kabenje.

Abantu baweze 10 abakafiira mu bubenje ku luguudo lwe Kampala – Gulu mu disitulikiti y’e Luweero ne Nakasongola mu bbanga lya wiiki emu.

Ku Mmande ku ssaawa nga 2 ez’ekiro era waliwo abantu abatiddwa ku kyalo Ngogolo mu ggoombolola y’e Butuntumula.

Emmotoka y’amaggye ga Uganda People’s Defense Forces (UPDF) yayingiridde Pikipiki ekika kya Bajaj boxer namba UEK 734Q era abantu 2 bafiiriddewo okuli Nakakya Harriet myaka 40 ne mutabani we Marvin Lukwago myaka 2 ate Musi David (60) ne Namugerwa Daniela (7) baddusiddwa mu ddwaaliro e Luweero nga bali mu mbeera mbi.

Kigambibwa emmotoka ya UPDF yatomedde Pikipiki okuva emabega kuba yabadde edduka nnyo nga n’okutuusa kati, tewali muntu yenna akwatiddwa.

Nga 19, August, 2023, ku kyalo Kikoona mu ggoombolola y’e Nakitoma era waliwo abantu abattibwa nga kivudde ku kabenje.

Akabenje mwalimu emmotoka tuleera ekika kya Mercedes Benz namba UAQ 108W/UAY 227P ne Mitsubishi Fuso Fighter namba UBL 345A.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });