Amawulire

Ssaabasajja Kabaka ajaguza emyaka 29 nga ali ku Nnamulondo

Obuganda buwuumye bwebubadde bujjukira nga bwegiweze emyaka 29, nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, ng’alamula ensiiye.

Omukolo guno ogwebyafaayo gwayindidde mu Lubiri e Mmengo ku Ssande wansi w’omulamwa gw’ ‘Okulwanyisa Mukenenya mu bizinga nga abaami be basaale.’

Ssabasajja Kabaka mu Lubiri yaweekeddwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nnaalinnya Lubuga,  Agnes Nabaloga era yayaniriziddw Kamalabyonna  Charles Peter Mayiga, Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa n’amwanjulira amakula.

Oluvannyuma Omutanda yalamusizza ku Mujaguzo era nayolekera Ekiwu nga akulembeddwamu ab’ekika ky’e Mbogo abamukongojja, bwatyo n’akkalira ku Namulondo ya bajajjaabe wakati mu kusanyusibwa okuva mu bantu ab’enjawulo.

Omuteregga yayogeddeko eri Obuganda n’alagira abantube bongere amaanyi mu kulima Emmwaanyi, ate bazongereko Omutindo olwo baziganyulwemu ekiwera.

Ccucu yagambye Emmwaanyi kirime kikulu nnyo mu Bwakabaka ne mu Uganda eyawamu nga kyekisobola okuyambako okuggya abantu mu bwavu.

Lukoma Nnantawetwa yalaze nga ebibiina by’obwegassi bwebigenda okuyambako ku bantu abalima mu bungi, okusuubula,n’okukuuma omutindo gw’emmwaanyi.

Nnamunswa yeebazizza abakulembeze ku mitendera egyenjawulo abaliko kyebakoze mu kutaakiriza emmwaanyi.

Beene ayagala wabeewo embeera esobozesa abalimi okufuna ebikozesebwa ebituukiridde mu bulimi,omuli okufuna endokwa ez’omutindo, n’ebijimusa, ate n’okusaawo enkola erondoola ebbeyi y’Emmwaanyi mu ggwanga.

Omutanda mu ngeri ey’enjawulo yasiimye ebifaananyi bya ba Ssekabaka ba Buganda 31 ebyasigiddwa era oluvannyuma yagabudde abantu be n’ekijjulo ky’ente eyabadde eyokeddwa.

Ye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu bubaka bwe yalambuludde ebikulu ebituukiddwako mu myaka 29 nga Beene ali ku Namulondo.

Muno mulimu abantu okutegeera ekitiibwa kya Nnamulondo, olulyo olulangira, n’ebyafaayo by’Obwakabaka, n’emirimu egy’enjawulo egikolebwa Obwakabaka.

Katikkiro agambye nti buli kimu ekituukiddwako kireeteddwa obumu n’okusoosowazibwa kw’abavubuka mu Buganda.

Jjajja Omukubiriza w’Olukiiko lw’abataka, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba yagambye tebagenda kulekerera Ssaabasajja mu kutumbula eby’obulamu nga bayita mukukolera awamu ng’abataka nakakasa nti bakwongera okuzoogerako mu nkiiko nebyoto nga basisinkanye abazzukulu.

Omutaka Mutumba yagambye nti mu kiseera kino ng’abataka, bali ku kawefube w’okulungamya abazzukulu ku nteekateeka zonna ezigobererwa ku mikolo gy’okabya ennyimbe nga bagobererwa obuwangwa n’ennono.

Okusaba kwakulembeddwamu  omulabirizi w’ekkanisa ya Seventh Day Adventist Church Central Uganda Conference, Omusumba Samuel Kajoba eyasabye Omutonzi okuwangaaza Beene.

Omukolo guno gwetabiddwako Nnabagereka,Omumyuka wa Pulezidenti eyawummula Kiwanuka Ssekandi,  Katukiro wa Busoga, Joseph Muvawala, Minisita wa Bunyoro ow’ensonga z’ebweru, Katahoire Phillip,  abalangira n’abambejja, bannalinnya, Ssabalangira , Ssaabaganzi. Bajjajja abataka ab’Obusolya.

Ba Katikkiro abaawummula Owek.Dan Muliika n’Owek J.B Walusimbi , Baminisita ba Kabaka , abaami b’amasaza, n’abakulembeze  b’edddiini ez’enjawulo.

Akulira ekibiina ki NUP,  Robert Kyagulanyi Ssentamu, Gen Mugisha Muntu owa ANT,  akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga Nsamba, Ababaka ba Palamenti ne Bassentebe ba zidisitulikiti ez’enjawulo babaddewo nnyo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });