Amawulire

Akabenje ddekabusa katutte obulamu bwa bantu 32.

Abantu 32 bebakafa ate bangi bakyali malwaliro nga bali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’akabenje mu ggwanga lya Egypt (Misiri).

Olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga ku makya, akabenje kaagudde mu bitundu bye Beheira ku luguudo lwe Cairo-Alexandria mayiro 82 zokka okuva mu kibuga Cairo.

Okusinzira ku Minisitule y’ebyobulamu, abantu abasukka 60 bali malwaliro ag’enjawulo.

Kigambibwa akabenje kaabaddemu emmotoka ekika kya Bbaasi n’emmotoka endala era ezimu zakutte omuliro.

Oluvanyuma lw’akabenje, emmotoka zakutte omuliro, ekyavuddeko bangi ku bantu okufa.

Minisitule y’ebyobulamu yasobodde okweyambisa emmotoka ekika kya Ambulensi ezisukka 20 okutaasa obulamu bw’abantu.

Dr Khaled Abdel Ghaffar, Minisita w’ebyobulamu agamba nti abamu ku bali mu mbeera mbi bali malwaliro okuli Wadi al-Natrun ne Al-Nubaria.

Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavuddeko akabenje.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top