Amawulire

Omukubi wa ssabbaawa ayongedde okutigomya bannamaggye.    

 

Poliisi n’amaggye bakwataganyeeko okunoonya omutemu Robert Card, eyasse abantu 18 mu bitundu bya Maine mu America.

Ku Lwokusatu akawungeezi nga 25, October, 2023, Robert Card, yalumbye ekifo ekimu ku kiwumulirwamu ekya Sparetime Recreation natta abantu 7 okuli 6 abasajja n’omukyala omu.

Oluvanyuma yazze mu mmotoka ye nalumba ebbaala, mayiro 4 zokka okuva weyakoze ettemu eryasoose natta abantu 8 okuli abasajja 7 abasangiddwa munda n’omukyala omu eyabadde ebweru.

Waliwo abalala basatu (3­), abaafudde nga bakabatuusa mu ddwaaliro.

Wadde omutemu yazuuse nti ye Robert Card myaka 40, ekigendererwa tekimanyiddwa kuba n’okutuusa kati akyaliira ku nsiko.

Lwaki ayinza okuba omuzibu okukwata.

Mu kunoonyereza kulaga nti

– Alina obutendeke bw’amaggye

– Ategeera buli kyakulwanyisa

– Ategeera buli kikomando mu by’okulwana.

– Yaliko omutendesi mu by’okulwanyisa.

– Mu kweyambisa emikono okutta, y’omu ku basinga obukambwe.

– Wadde bakyalemeddwa okuzuula ebbaluwa yonna eraga nti abadde alina omulimu, amaggye galaga nti omutemu abadde awa amaggye amafuta.

– Mukwano gwe mu ggye ezibizi agamba nti mu kutendekebwa, yeyali omukubi wa ssabbaawa asinga.

– Y’omu ku basajja abasiinga okuba ab’obulabe singa ayingira ekibira nga bamunoonya.

– Wadde amaggye gasobodde okuzuula emmundu egambibwa nti yakozeseddwa okutta, okuzuula emmotoka gye yabaddemu ekika kya Subaru enjeru n’amakaage gazuuliddwa, kigambibwa yayingidde ensiko, gyategeera obulungi.

– Waliwo abagamba nti ayinza okuba yadduse nga yeeyambisa amazzi kuba y’omu ku basinga okuwuga mayiro empitirivu ate mu mazzi.

– Kigambibwa, abadde alina emisango 9 egy’obutemu era abadde anoonyezebwa.

Mu kiseera kino, abalina omutima omunafu batandiise okudduka mu bitundu bye Maine olw’omutemu atannakwatibwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top