Ebyobusubuzi

Akasattiro mu butale bwa Kampala, Abakulira obutale M7 beyagobye balemedde ku mpooza

Akasattiro mu butale bwa Kampala, Abakulira obutale M7 beyagobye balemedde ku mpooza

Obunkenke bweyongedde mu butale  bwa Kampala okuli Owino, Nakasero, Wandegeya n’obutale obulala  olwa   bakulembeze mu butale buno okugenda mu maaso n’okusolooza  empooza  pulezidenti  Museveni gyeyayimirizza bweyabadde agoba  ababadde bakulembera obuta nti abasubuzi abagaana okusasula empoza bagwera mu makomera ekintu ekitabudde abasuubuzi.

Okusinziira ku basuubuzi abakolera mu butale  okuli Nakasero bagambye nti waliwo banabwe abawerako  abakatiddwa olw’okugaana okuwa empooza nga bano abtwaliddwa ku poliisi ya Old Kampala nebagulibwako emisango.

Ku nsonga eno olukiko lwa KCCA lutaddewo olukikko olugenda okunonyereza ku nsonga eno okuzula abakulembeze abakyasolooza empooza nabakungu mu KCCA ababade balya ssente  mu basuubuzi nti era webanakizuula nga waliwo abakyagya ensimbi nabakungu ba gavumenti bonna  bagenda  kukwatibwa batwalibwe k polisi  bavunanibwe olw’okugyemera ekiragiro kya pulezidenti.

Abamu ku bakulembeze abagibeddwako kuliko Kushaba Suzan owa Owino, Kimuli Faridah Wandegeya nakulira akatale k’e Wandegeya nga bano olukiko lwa Kanso ya KCCA bebagala okutwala ku poliisi babawabire nti bafuuse babbi olw’okuddamu okusoloza empooza mu katale ate nga pulezidenti yabayimirizza bakasala gyebagamba bagitwalira abamu  kubakulira Kampala ate nga bamaze kutulugunya basuubuzi

Bakkansala ba KCCA batadde amyuka loodi meeya wa Kampala Doreen Nyanjura ababulire  lwaki amagye ga UPDF gakyali mu katale ka Owino n’obulala nti  securite eno erina kubeera mu maka ga  pulezidenti  sosi mu katale bagala  KCCA ebabulire ani avunanyizibwa ku magye gano.

Bonny Bukenya Kkansala w’e Kawempe asabye olukikko lwa KCCA era  luyise ekiragiro ekikwata abakunganya kasasiro mu Owino nga bakozesa loore za Kanso ate nga mu kukungaanya kasasiro ono basuubuzi babagyako ensimbi nnyingi

Embera eno abasuubuzi bagambye nti ebatadde ku bunkenke kubanga abantu bulezidenti beyagobye mu butale kati bakambuwadde nyo bagala kusolooza kasembeyo era  kyandibaako abasuubuzi abamu okutibwa nga baganye okusasula empooza.

Kigambibwa nti Museveni bweyabadde agoba abakulembeze mu butale  yawezze abakukembeze bano obutaddamu kusolooza mpooza yonna nabawa eymyezi esatu  balage embalilira nensansanya

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });