Ebyobufuzi

Ababaka ba NUP, mumyezi 6 abamu tebanayaka ate abalala bakyeyozako nfufu

Ababaka ba NUP, mumyezi 6 abamu tebanayaka ate abalala bakyeyozako nfufu

SEGIRINYA MUHAMAD, Ono mubaka wa Kawempe North  mu kiseera kino ali mukomera ku misango gyobutemu ku bigambibwa nti alina kyamaanyi ku ttemu ly’ebijambiya  elya kolebwa mu bitundu by’e Masaka  kyokka nga tanaba kugenda mu kkomera Ssegirinya akoledde nnyo abantu b’e Kawempe North abazimbidde amalwaliro,  yateekawo ensawo gyeyatuuma Ssegi Box mwayitira okuwa abantu be entandikwa bino nebimuteeka ku kifo eky’okumwanjo okuba omu ku babaka  abasinze okukola wadde nga  bweyagendera mu kkomera natuuka okufunirayo ekirwadde ekimuluma kati  abadde tanayogera kigambo kyonna mu palamenti.

PAUL  LUTTAMAGUZI , mubaka wa Nakaseke South ono ye mubaka atelya ntama  olw’ebigambo by’obusaggwa byayogerera gavumenti ng’ayita  ku mikutu gy’amawulire kyokka nga ne  mu Palamenti ateesa  akubirizza  abantu okwekalakaasizza mu nimiro nga bakole bave mu kusabirizza banja byabuguzi basobole okuva mu bwavu.

JOEL SSENYONYI , wa Nakawa West ate nga ye ssentebe wa kakikko ka COSASE akanonyereza ku ssente za gavumenti zeteeka mu bitongole  ano ng’ayitamu kakikko kano akunyizza abanene ba gavumenti bangi olw’okukozesa obubi ensimbi z’ebitongole , mungeri yeemu erinya alikoze ng’ayita mu kifo kyalimu nga omwogezi w’e kibiina kya NUP nga wano bangi webamutegeredde okuva weyava ku TV.

MUHAMAD MUWANGA KIVUMBI, mubaka wa Butambala  ate nga yakulira akabonda ka babaka abava mu Buganda , Kivumbi ebbanga lya maze ng’akiika mu palamenti tewali abusabuusa buwerezza bwe kubanga y’omu ku babaka abasinze okuteeka gavumenti ku ninga okukola ebintu  ebiyamba banna Uganda.

BETTY NAMBOOZE , Mubaka wa  Mukono Municipality. Nambooze y’omu kubabaka abasinga okukulilizibwamu muby’obufuzi bya  Uganda olw’eteeesa ye mu palamenti n’okulwanilira  eddembe ly’obuntu mu gwanga.

MATHIA S MPUUGA, yakulira oludda oluvuganya gavumenti ate nga ye mubaka wa Nyendo Mukungwe ekimufuula omu ku babaka abasinze mu nnaku 100 ezisoose mu palamenti kwekubeera nti atadde gavumenti ku ninga okuyimbula abamu ku bantu abaakwatibwa mu biseera by’okulonda ekilala yakunga ababaka ba palamenti abali ku ludda  lwa opozisoni nebalaga obutali bumativu bwabwe nebafuluma palamenti  nebatekawo akegugungo nebalaga obutali bumativu bwabwe ku ngeri ababaka banabwe okuli Ssegirinya ne Allan Ssewanya gyebakwatibwa ng’akeediimo kano kakulungula wiiki .

IBRAHIM SSEMUJJU NGANDA, mubaka wa Kira Municipality  ono munsengeka ezisimbyo ku babaka abasinze okuteesa yatekebwa mukifo nnamba 3 era yavaayo navuganya ku kifo  kya sipiika wa palamenti  era y’omu ku babaka abakyasinze okuteesa  mu palamenti  .

MUHAMAD NSEREKO   wa Kampala  Central  naye mubaka atelya ntama emirundi mingi alabikira ku fulo ya palamenti nga n’omulundi ogwasembye yasabye amyuka sipiika wa palamenti Anitah Among agobe Minisita w’ensonga z’omunda mu Gwanga Gen Kahinda Otafire olwokugya mu  palamenti nga ayambadde mungeri etaweesa kitiibwa nti yabadde ayambadde ekigoye ekyafananyirizza Caten nga tasibye namapeesa ekyawawalirizza Sipiika okugamba omubaka Sarah Opendi okugenda amusibe epeesa mu kifuba.

GEOFREY LUTAAYA , mubaka wa Kakuuto abantu bangi babusabuusa oba ddala Lutaaya ekisanja kino kirinagwako nga alina kyayihedde mu palamenti kyokka yacamula abantu bweyavaayo nayogera ku fulo ya palamenti ng’asaba palamenti eyingire mu nsonga , ate teyakoma okwo abantu b’e Kakuuto abaddukiridde n’ebintu omuli emmotoka z’ambyulensi n’ebintu ebilala.

RICHARD SSEBAMALA, mubaka wa Bukoto Central  Ssebamala ono amanyi agatadde nnyo mu kulwnilira eddembe ly’abantu naddala mu biseera by’ebijambiya bwebiberedde mu bitundu by’e Masaka  yayimilira ku fulo ya palamenti nasaba palamenti eteeka ebitongole bya securite okuyingira munsonga z’ebijambiya mu kiseera ekyo ebyali bitandise nga gavumenti elowoza nti butemu obwali obwa bulijjo era nti yateekawo eibinja ky’abantu mu bitundu by’e Masaka okufuuza abali bakola ebikolwa bimo nga bayambibwa securiti.

SEWUNGU GOZANGA. Mubaka wa Kalungu West , Ssewungu y’omu ku babaka abogerwako abakyasinze okuteesa era omusomesa omutendeke azze alabikira ku fulo ya palamenti ng’ateeka gavumemti ku ninga eyambe abasomesa abakoseddwa nnyo omugalo n’okubanja ensimbi obuwumbi 20 gavumenti zeyasuubizza okuwa abasomesa  ezitamanyiddwa ani yazibba kubanga abasomesa tebanaziguna.

MUWADA NKUNYINGi, mubaka wa Kyadondo East amanyige agatadde mu kulwanilira eddembe ly’obuntu kubanga alwanilidde Lumbye eyakwatibwa e Turkey wadde nga tanalabikira ku fulo ya palamenti ng’aliko ensonga zagusa.

MEDARD LUBEGA SSEGGONA, Wa Busiro East muteesa mulugi naye enaku ezisose mu palamenti abade tanaba kubaako nsonga yamanyi gyateesako kyokka ajukirwa nnyo nga omu kabana mateeka ba Robert Kyagulanyi Ssentamu abali mu musango gwe ogw’okubba obululu.

RONALD BALIMWEZO wa Nakawa East ate nga ye minisita w’ebyetaka mu gavumenti y’ekisikirize  mu nnaku ezisoose ekimi Balimwezo avuddeyo ku fulo ya palamenti nalwanilirwa abantu mu bitundu ebiwerako abali mu buzibu bw’ ekibba taka ekigenda mu maaso muggwanga .

NALUYIMA BETTY ETHEL mubaka omukyala owa disitulikiti ya  Wakiso yaleeta ekiteeso ku fulo ya palamenti ng’ayagala ssente ezikunganyizibwa mu gavumenti z’ebitundu zisigale mu bitundu ebyo gyezikunganyizibwa mu kifo ky’okusokera mu minisitule y’ebyensimni ate gyeziva neziddayo mu wansi nti kizingamya enkulakulana y’ebitundu kubanga   ssente okuva minisitule y’ebyensimbi   zivaayo kasooba ate  nga ebitundu bilina ebintu bingi eby’okukolebwako.

SHAMIM MALENDE mubaka omukyala kwa Kampala Central akoze kyamanyi okulaba nga ababaka okuli Allana Ssewanyana owa Makindye West ne Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North bafuna obwenkanya ku misango gy’ebabatekako egy’ebijambiya era bino emmotoka  ye yayononebwa abaserikale abaali bakwata Segirinya  bweyali ayimbuddwa kkooti  wadde nga Malende tanabaako nsonga yasimba gyaleta ku fulo ya palamenti.

ABUDALLAH KIWANUKA MULIMA MAYUUNI, wa Mukono North ono naye  alwaniridde nnyo abamu ku bantu abaakwatibwa mu biseera by’okulonda era waliwo abayimbuddwa olw’omulanga gagwe gwakubye ng’ayita ku fulo ya palamenti.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });