Amawulire

Akulira eby’okulonda mu Wakiso Tolbert Musinguzi alabudde ebyalo ebirimu enkaayana

Musinguzi alabudde abakulembeze b’ebyalo ebiriko enkaayana okwetereeza ng’okulonda kw’obukiiko bw’abakyala tekunnabaawo.

Akulira eby’okulonda mu disitulikiti ye Wakiso Tolbert Musinguzi alabudde abakulembeze b’byalo ebiriko enkaayana okwetereeza ng’okulonda kw’obukiiko bw’abakyala tekunnabaawo.

Musinguzi yagambye nti teri kyalo kyampewo kigenda kukkirizibwa kulonda bukiiko bw’abakyala nga tekimanyiddwa mubitabo by’akakiiko k’ebyokulonda.

“Tulina ebyalo ebimanyiddwa nga birina ne sitampu ezikkirizibwa mumateeka era bino byebigenda okuberamu okulonda. Wadde ba ssentebe tebagenda kwetagisa mukulonda kuno, singa wabaawo embeera ey’okuteeka omukono kukiwandiiko, tugenda kukozesa sitampu z’ebyalo zetulina.” Musinguzi bweyayongeddeko.

Musinguzi okwogera bino, abadde alambulula ku nteekateeka z’okulonda kw’obukiiko bw’abakyala mu disitulikiti ye Wakiso okuviira ddala ku byalo okutuuka ku disitulikiti.

Agambye nti abakyala abaweza emyaka 18 ate nga bannayuganda nga balina densite z’eggwanga bebagenda okukkirizibwa okwetaba mukulonda kuno.

Annyonnyodde nti oyo atalina densite agenda kukozesa voters slip oba akapapula akaamuwebwa ng’afuna densite ye’ggwanga nga bino atabirina tajja kukkirizibwa kwetaba mukulonda.

Abakyala abasoba mu mitwalo 50 bebasuubirwa okwetaba mu kulonda ssaako okulondebwa okwetoloola disitulikiti yonna. Wakiso erina ebyalo 720, emiruka 147 ssaako n’eggombolola 27.

Okwetaba mu kulonda kuno, teri mpapula zabuyigirize zetagibwa eri abesimbyewo oba abalonzi. Naye bano bonna balina kuba bakyala nga tewali mwami agenda kukkirizibwa mukulonda.

Okulonda kugenda kuva ku byalo ng’obukiiko obunaayitamu bugenda kulonda obw’emiruka olwo ate obw’emiruka bulonde obw’eggombolola. Abayiseemu bebagenda okulonda obukiiko bwa disitulikiti.

Okulonda okuva ku byalo okutuuka ku ggombolola kwa kusimba mumugongo gwoyo eysimbyewo era ng’abantu 5 bebagenda okulondebwa kubukiiko buno. Olwo ku disitulikiti, akakiiko kagenda kubaako abantu 4 era okulonda wano kwa kusuula kalulu.

Obukiiko Bw’abakyala bulondebwa ng’emu kunkola ey’okutuusa emoereza ennungi kubyalo ssaako okwanjula ebizibu abakyala bye bayitamu mubulamu bwabwe obwa bulijjo.

ENTEEKATEEKA Z’OKULONDA NGA BWEZIYIMIRIDDE:

Musinguzi yalambuludde enteekateeka z’okulonda mu Wakiso nga bweziyimiridde era nategeeza nga kino bwekigenda okukolebwa wakati mukugoberera ebiragiro bya minisitule y’ebyobulamu ku kirwadde kya Corona.

Okulonda ku byalo kutandika nakuwandiisa bakyala bonna mukitabo ky’akakiiko k’ebyokulonda nga kuno kwa kubaawo nga June 10th -13th okwetoloola disitulikiti.

Oluvannyuma enkalala z’abakyala bonna zitimbibwe kubyalo nga June 23rd -24th okwongera okukakasa amannya. Nga June 27th okutuuka June 1st kwekusunsula abagala okwesimbawo. Kampeyini zakubaawo nga June 4th ku 6th olwo okulonda kubyalo kwa kubaawo nga July 7 omwaka guno

Okulonda ku miruka kwakutandika nakuwandiisa bakyala okuva nga July 8th ne 9th. Olwo enkalala zabwe zitimbibwa nga July 11th okutuuka 12th. Okusunsula kwakubaawo nga July 13th ne 14th ate kampeyini zabwe zibeewo nga July 18th -20th. Okulonda kwakubaawo nga July 22nd.

Ku mutendera gw’eggombolola, okuwandiisa kwakubaawo nga July 23rd, olwo enkalala zitimbibwe nga July 25th ne 26th. Okusunsula kwakubaawo nga July 27th ne 28th ate kampeyini zibeewo nga July 29th ne August 1. Okulonda kwakubaawo nga August 2nd.

Musinguzi yagambye nti kumutendera gwa disitulikiti, okuwandiisa kwakubaawo nga August 3rd olwo enkalala zitimbibwe nga August 4th ne 5th. Okusunsula kwakubaawo nga August 5th ate kampeyini zibeewo nga August 8th okutuuka August 11th. Okulonda kwakubaawo nga bAugust 12th

Bano bonna abaanaalondebwa bebagenda okwetaba mukulonda kw’eggwanga okunabaawo nga August 22nd ne 23rd omwaka guno.

Eggulo (Lwakubiri) akulira eby’okulonda mu Wakiso, Tolbert Musinguzi yasisinkanye ab’ebyokulonda mu ggombolola ezikolwa Wakiso okubabangula kubutya bwebagenda okutambuzaamu enteekateeka eno.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });