Amawulire

Bbomu esangiddwa mu nsawo y’omuyizi wa pulayimale.

 

Bbomu ekika kya guluneedi esattizza abatuuze b’e Makerere – Kavule mu munisipaali y’e Kawempe ne bayita poliisi bukubirire okutaasa embeera.

Bbomu eno yazuuliddwa Hood Kalute ng’ono yagisanze mu nsawo ya mutabani we ey’ebitabo. Omwana ono (amannya galekeddwa) asoma P3 ku ssomero lya Makekere C.O.U P/S. Kigambibwa nti bbomu eno omwana yagironda ku Lwakutaano n’agizannyisa oluvannyuma n’agiteeka mu nsawo n’agitwala awaka.

Kalute yategeezezza nti wiikendi yonna baabadde mu kyalo gye baagenze mu kwabya ennyimbe era omwana yagenze n’ensawo ye nga ne bbomu mweri.

Bwe baakomyewo ku Ssande ekiro, Kalute kwe kukebera ensawo ya mutabani we ng’awulira ezitowa n’agisumulula abeeko by’ateekamu eby’okutwala ku ssomero. Olwo zaabadde ssaawa 5:00 ez’ekiro era bwe yasumuludde ensawo amaaso gaggukidde ku kintu, oluvannyuma kye yatagedde nti bbomu.

“ Nadduse kiwalazzima okugenda ku poliisi y’oku Kaleerwe, era ab’awaka nnalese mbalagidde bonna okufuluma ennyumba,” Kalule bwe yategeezezza.

Poliisi yasitukiddemu okutaasa embeera, n’etuuka  mu maka ga Kalute. Baafu­lumizza ensawo ey­abaddemu bbomu ne bagiteeka mu kibangirizi okuliraana awaka okutuusa obudde bwe bwakedde ne bayita ekitongole kya poliisi ekitegu­lula bbomu abazze n’ebyuma, omu ku bo n’asembera awaabadde bbomu eno n’agiyoolawo n’agitwala mu mmotoka erimu ebyuma ebizimal­amu amaanyi ne bagitwala.

Moses Mutebi Konkomebbi ssen­tebe w’omuluka gwa Makerere III yategeezezza nti kirabika omwana bbomu yagironze okuliraana es­somero kubanga ekifo kino edda waaliwo enkambi y’amagye.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top