Amawulire

Baheedimaasita mukkirize abasomesa bammwe okwekolelawo obulimu obulala.

RDC atwala Kasangati, Frank Kyazze asisinkanye abakulira amasomero ga Gavumenti mu Kasangati, n’abasaba bakkirize abasomesa bayiiyeeyo kye bagatta ku busomesa olw’okwekulakulanya.

“Covid yatusanga tetwegese kimala n’atugoya nnyo, embeera mwagiraba nga ekwasa ennaku naddala abasomesa mwatuuka n’okwoleza abantu engoye mufuneyo 5000, lwa kubulwa mirimu gye mugatta ku nnoni. Mbasaba abakulira amasomero mukkirize abasomesa bakoleyo obulimu omuvaamu ensimbi, Abakulira amasomero mbu muli bakambwe ebitagambika naye  mbasaba musseewo olujegere n’abasomesa mubalage omukwano,” bwatyo RDC Kyazze bwe yagambye.

Ensisinkano eno yabadde ku Tawuni Kanso ya Kasangati nga yeetabiddwamu Baheedimaasita b’amasomero ga Pulayimale me Ssiniya aga Gavumenti n’ekigendererwa okunyweza okumanyagana, okwongera okuyiiyiza awamu n’okwogera amaanyi mu nkola y’emirimu.

Yakkaatiriza nnyo obukulu bw’okuba abayiiya babeereko obulimulimu bwe bagatta ku nnoni baleme kutunuulira mulimu gumu n’alabula nti singa embeera ya Covid nga bwe yajja nti singa ekisingawo kijja nga tewali nteekateeka kijja kuba kibazzaayo mu kulaba ennaku nga bwe gwali mu biseera bya Covid.

Abakulira amasomero naddala aga Pulayimale baalaze Kyazze ekizibu kumpi ekimaamidde amasomero gonna nti ebizimbe bikutte mu mbinabina, abasomesa batono so nga omuwendo gw’abayizi mungi ddala, amayumba omusulwa abasomesa entebe abayizi kwe batuula saako ne kabuyonjo n’enkomera ku masomero.

Kuno baagasseeko okusaba nabo amasomero gaabwe gamanyibwengawo mu biseera by’ebigezo nga bifulumye Tawuni Kaanso ebawengayo ku bbaluwa ezibasiima okusinziira nga bwe baba bakoze kuba balwana nnyo naye tebabalabawo.

Amyuka tawuni kiraaka, Wilson Mubiru yabagumizza nga ensonga ezimu ku buzibu ebibaruma bwe zigenda okukolwako mu mwaka gw’eby’ensimbi guno 2022/2023 nga tegunnaggwako.

Era nebamenya amassomero nga bwegagenda okufuna ebintu eby’enjawulo omuli Kabuyonjo,entebe z’abayizi,ebibiina n’ebirala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });