Amawulire

ShabaabOmusuubuzi w’omu Kikuubo akubiddwa amasasi mu bisambi.

Omusuubuzi w’omu Kikuubo akubiddwa amasasi n’aweebwa ekitanda ng’apooca n’ebiwundu.


Gerald Kafeero 35, nga musuubuzi wa bizigo mu Kikuubo era omutuuze w’e Bunnamwaya mu munisipaali y’e Makindye – Ssaabagabo ye yakubiddwa amasasi mu bisambi era ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya God Care Health Centre e Lukuli. Kafeero okukubwa amasasi, yabadde agenze ku nnyumba gye yazimba e Lukuli mu Makindye ng’eno ebadde esulwamu balamu be okuli; Brenda Kemigisha ne Mary Kemirembe era nga bano poliisi yabakutte bagiyambeko mu kubuuliriza.
Kafeero yagambye nti yagula ettaka mu 2013 n’ennyumba nga bali ne mukyala we, Doreen Basemera gw’alinamu abaana babiri. Wabula oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya ne baawukana, Basemera yagenda ebweru w’eggwanga, olwo ennyumba n’agirekamu baganda be ababadde bagikuuma. Yabadde atutteyo abaguzi n’alagira balamu be okugifuluma, abaamuwendulidde omukuumi eyamukubye amasasi mu bisambi.


Patrick Onyango, omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yagambye nti, poliisi yakutte abantu 4 abateeberebwa okuzza omusango guno

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top