Amawulire

Batongozza empaka z’obugaali bw’okumazzi,zaakubera ku nnyanja Nnalubaale.

Ebikujjuko bino byatandikiddwa ekitongole ky’eby’obulambuuzi ekya Epic Escapades n’ekya Havy Tours and Travel Company okumpi ne wooteeri ya Brisk Recreation e Jinja nga kwatongozeddwa abakungu okuva mu Minisitule y’ebyobulambuzi.

Okusinziira ku Principal Tourism Officer mu Minisitule y’eby’obulambuzi mu ggwangwa, Harriet Kizza, yasanyukidde obugaali buno n’ategeeza nti kino kigenda kwongera ku muwendo gw’abalambuzi mu Jinja City n’eggwanga okutwaliza awamu.

Yakutidde kkampuni eddukanya okuvugira obugaali ku nnyanja Nnalubaale okufuba okulaba nga bafaayo ku kukuuma abalambuzi obutafuna buzibu bwonna nga bassaawo abantu abanaayamba abagudde mu nnyanja.

Kevin Byaruhanga akulira kkampuni ya Epic Escapades ne Havy Tours and Travel Uganda Ltd yategeezezza nti obugaali buno  bwe busookedde ddala okuvugibwa mu Uganda. Yayongeddeko ntu bujja kuyamba n’ababuvuga okubeera ffiiti n’okutta situleesi nga banyumirwa ne bannaabwe.

Mu kiseera kino balina obugaali butaano bwe baagula obukadde 37 okuva mu nsi z’ebweru.  

Akulira eby’obulambuzi mu Jinja City, Simon Kaita, yategeezezza nti musanyufu olw’obugaali buno kubanga bugenda kwongera ku balambuzi.  

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });